Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

7
1Kabona asinga obukulu n’ayogera nti Ebyo bwe biri bwe bityo? 27:2 Zab 29:3, Lub 11:31; 15:7Suteefano n’agamba nti
Abasajja ab’oluganda era bassebo, muwulire. Katonda ow’ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng’ali e Mesopotamiya, nga tannabeera Kalani, 37:3 Lub 12:1; 48:4n’amugamba nti Va mu nsi yannyo ne mu kika kyo, ogende mu nsi gye ndikulaga. 47:4 Lub 11:32; 12:5Awo n’ava mu nsi y’Abakaludaaya, n’abeera mu Kalani: oluvannyuma kitaawe bwe yamala okufa, n’amuggyayo n’amuleeta mu nsi eno mwe mutudde mmwe kaakano; 57:5 Lub 12:7; 13:15; 17:8; 48:4, Ma 2:5so teyamuwa butaka muno newakubadde awalinnyibwa ekigere: n’asuubiza okugimuwa okugirya, ye n’ezzadde lye oluvannyuma lwe, nga tannaba na mwana. 67:6 Lub 15:13,14Katonda n’ayogera bw’ati ng’ezzadde lye baliba bagenyi mu nsi y’abalala; balibafuula abaddu, balibakolera obubi emyaka bikumi bina. 77:7 Kuv 3:12N’eggwanga eriribafuula abaddu nze ndisala omusango gwalyo, bwe yayogera Katonda: n’oluvannyuma balivaayo balinsinziza mu kifo kino. 87:8 Lub 17:10; 21:4N’amuwa endagaano ey’okukomola: awo Ibulayimu n’azaala Isaaka, n’amukomolera ku lunaku olw’omunaana: ne Isaaka n’azaala Yakobo: ne Yakobo n’azaala bajjajja abakulu ekkumi n’ababiri. 97:9 Lub 37:11,28; 39:1,2,21; 45:4Bajjajja abakulu bwe baakwatirwa Yusufu obuggya ne bamutunda mu Misiri. Katonda n’abeeranga naye, 107:10 Lub 39:21; 41:38-45, Zab 105:21n’amulokola mu nnaku ze zonna, n’amuwa okuganja n’amagezi mu maaso ga Falaawo kabaka w’e Misiri, n’amufuula omufuzi mu Misiri ne mu nnyumba ye yonna. 11Enjala n’egwa ku nsi yonna ey’e Misiri n’eya Kanani, n’ennaku nnyingi, so ne batalaba mmere bajjajjaffe. 127:12 Lub 42:2Naye Yakobo bwe yawulira ng’emmere enkalu eri Misiri, n’atuma bajjajjaffe omulundi ogw’olubereberye: 137:13 Lub 45:3,16n’omulundi ogw’okubiri Yusufu baganda be ne bamutegeera: ekika kya Yusufu ne kimanyibwa Falaawo. 147:14 Lub 45:9-11; 46:27, Kuv 1:5, Ma 10:22Yusufu n’atuma n’ayita Yakobo kitaawe ne baganda be bonna, abantu nsanvu mu bataano. 157:15 Lub 46:1; 49:33, Kuv 1:6Yakobo n’akkirira e Misiri, n’afiirayo, ye ne bajjajjaffe; 167:16 Lub 23:16,17; 33:19, Yos 24:32ne batwalibwa e Sekemu; ne baziikibwa mu ntaana Ibulayimu gye yagula omuwendo gw’effeeza ku baana ba Kamoli mu Sekemu. 177:17 Kuv 1:7Naye ng’ebiro eby’okusuubiza bwe byali okumpi, Katonda kwe yayatulira Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri, 18okutuusa kabaka omulala lwe yabaawo ku Misiri ataamanya Yusufu. 197:19 Lub 24:7, Kuv 1:9,22Oyo bwe yasalira amagezi eggwanga lyaffe, n’akola obubi bajjajjaffe, ng’abasuuzanga abaana baabwe abawere baleme okubeera abalamu. 207:20 Kuv 2:2, Beb 11:23Mu biro ebyo Musa n’azaalibwa, n’abeera mulungi eri Katonda, ne bamuliisiza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe. 217:21 Kuv 2:5,10, Kuv 2:22; 12:40Bwe yasuulibwa, muwala wa Falaawo n’amutwala n’amulera ng’omwana we. 22Musa n’ayigirizibwa mu magezi gonna ag’e Misiri; n’abeera wa maanyi mu bigambo bye ne mu bikolwa bye. 237:23 Kuv 2:11Naye obukulu bwe yali alitera okutuusa emyaka amakumi ana, n’alowooza mu mutima gwe okulaba baganda be, abaana ba Isiraeri. 247:24 Kuv 2:12Bwe yalaba omuntu akolwa obubi, n’amutaasa, n’amuwoolera eggwanga omuntu eyali akolwa obubi, n’akuba Omumisiri. 25N’alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda agenda okubawa obulokozi mu mikono gye: naye tebaategeera. 267:26 Kuv 2:13Nate ku lunaku olw’okubiri n’abasanga nga balwana, n’agezaako okubatabaganya, ng’agamba nti Abasajja, mmwe muli ba luganda: kiki ekibakoza obubi mwekka na mwekka? 277:27 Kuv 2:14, Luk 12:14Naye oli eyali akola munne obubi n’amusindika eri, ng’agamba nti Ani eyakufuula ggwe omukulu n’omulamuzi waffe? 28Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri jo? 297:29 Kuv 2:15,22; 18:3,4Musa n’adduka olw’ekigambo ekyo, n’abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, gye yazaalira abaana babiri ab’obulenzi. 307:30 Kuv 3:2, Ma 33:16Awo emyaka amakumi ana bwe gyatuuka, malayika wa Mukama n’amulabikira mu nnimi z’omuliro nga gwaka mu kisaka, bwe yali mu ddungu ku lusozi Sinaayi. 31Musa bwe yalaba ne yeewuunya ky’alabye. Bwe yasembera okwetegereza, ne wabaawo eddoboozi lya Mukama 327:32 Kuv 3:6nti Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo. Musa n’akankana, so teyaguma kutunuulira. 337:33 Kuv 3:5Mukama n’amugamba nti Sumulula engatto eziri mu bigere byo: kubanga mu kifo wano w’oyimiridde watukuvu. 347:34 Kuv 2:24; 3:7,10Okulaba ndabye okukolwa obubi abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale kaakano jjangu, nnaakutuma mu Misiri. 357:35 Kuv 2:14Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti Ani eyakufuula omukulu era omulamuzi? oyo Katonda gwe yatuma okuba omukulu era omununuzi mu mukono gwa malayika eyamulabikira mu kisaka. 367:36 Kubal 14:33, Kuv 7:3,10; 14:21Oyo n’abaggyayo bwe yamala okukola amagero n’obubonero mu Misiri, ne mu Nnyanja Emmyufu, ne mu ddungu emyaka amakumi ana. 377:37 Bik 3:22, Ma 18:15Oyo ye Musa oli eyagamba abaana ba Isiraeri nti Katonda alibaleetera nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze. 387:38 Bik 7:53, Kuv 19:3, Ma 9:10Oyo ye yali mu kkanisa mu ddungu, wamu ne malayika eyayogerera naye ku lusozi Sinaayi, era wamu ne bajjajjaffe; eyaweebwa ebigambo eby’obulamu okutuwa ffe: 397:39 Kubal 14:3bajjajjaffe gwe bataayagala kuwulira, naye baamusindika eri, ne baddayo e Misiri mu mitima gyabwe, 407:40 Kuv 32:1,23nga bagamba Alooni nti Tukolere bakatonda abalitukulembera: kubanga Musa oyo, eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi ky’abadde. 417:41 Kuv 32:4,6Ne bakola ennyana mu nnaku ziri, ekifaananyi ne bakireetera ssaddaaka, ne basanyukira emirimu gy’emikono gyabwe. 427:42 Yer 19:13, Am 5:25-27Naye Katonda n’akyuka, n’abawaayo okusinzanga eggye ery’omu ggulu; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti
Mwampeeranga nze ensolo ezattibwanga ne ssaddaaka
Emyaka amakumi ana mu ddungu, ennyumba ya Isiraeri?
43Ne musitula eweema ya Moloki,
N’emmunyeenye ya katonda Lefani,
Ebifaananyi bye mwakola okubisinzanga:
Nange ndibatwala ennyuma w’e Babbulooni.
447:44 Kuv 25:40N’eweema ey’obujulirwa yali ne bajjajjaffe mu ddungu, nga bwe yalagira eyagamba Musa okugikola ng’engeri gye yalaba bwe yali: 457:45 Lub 17:8; 48:4, Ma 32:49, Yos 3:14; 18:1bajjajjaffe bwe baagiweebwa ne bagireeta wamu ne Yoswa bwe baalya amatwale g’ab’amawanga, Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe okutuusa mu nnaku za Dawudi; 467:46 2 Sam 7:2, Zab 132:5eyasiimibwa mu maaso ga Katonda, n’asaba okumunoonyeza aw’okutuuza Katonda wa Yakobo. 477:47 1 Bassek 6:1Naye Sulemaani n’amuzimbira ennyumba. 487:48 Is 66:1,2Naye Ali waggulu ennyo tatuula mu nnyumba ezaakolebwa n’emikono; nga nnabbi bw’ayogera nti
49Eggulu ye ntebe yange,
N’ensi ye ntebe y’ebigere byange:
Nnyumba ki gye mulinzimbira? bw’ayogera Mukama:
Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
50Omukono gwange si gwe gwabikola ebyo byonna?
517:51 Kuv 32:9, Leev 26:41, Kubal 27:14, Yer 9:26, Is 63:10Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwa mu mitima ne mu matu, mmwe muziyiza bulijjo Omwoyo Omutukuvu; nga bajjajja bammwe, nammwe bwe mutyo. 527:52 2 Byom 36:16, Mat 23:31Nnabbi ki gwe bataayigganya bajjajjammwe? Battanga abaasooka okubuulira ebigambo eby’okujja kwe Omutuukirivu, gwe mumaze okuwaayo kaakano okumutta; 537:53 Kuv 20:1-26, Bag 3:19, Beb 2:2Mmwe abaaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika, so temwagakwata.
547:54 Bik 5:33Awo bwe baawulira ebyo ne balumwa mu mitima gyabwe, ne bamulumira obujiji. 557:55 Luk 22:69Naye bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, n’akaliriza amaaso mu ggulu, n’alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng’ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda; 56n’agamba nti Laba, ntunuulidde eggulu nga libikkuse n’Omwana w’Omuntu ng’ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 57Ne baleekaana n’eddoboozi ddene, ne baziba amatu gaabwe, ne bamweyiwako n’omwoyo gumu, 587:58 Bik 22:20ne bamusindiikiriza ebweru w’ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abajulirwa ne bateeka engoye zaabwe ku bigere by’omulenzi, erinnya lye Sawulo. 597:59 Zab 31:5, Luk 23:46Ne bakuba amayinja Suteefano bwe yasaba n’agamba nti Mukama wange Yesu, toola omwoyo gwange. 607:60 Luk 23:34N’afukamira n’akaaba n’eddoboozi ddene nti Mukama wange, tobabalira kibi kino. Bwe yamala okwogera ebyo ne yeebaka.