Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

6
16:1 Bik 4:35Awo mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya, kubanga bannamwandu baabwe baabafissanga mu kuweereza okwa bulijjo. 2Ekkumi n’ababiri ne bayita ekibiina ky’abayigirizwa, ne bagamba nti Tekiwooma ffe okulekanga ekigambo kya Katonda okuweerezanga ku mmeeza. 36:3 1 Tim 3:7,8Kale, ab’oluganda, mulonde abantu mu mmwe abasiimibwa musanvu, abajjudde Omwoyo Omutukuvu n’amagezi, be tunaateeka ku mulimu guno; 4naye ffe tunaanyiikiranga mu kusaba n’okuweereza ekigambo. 56:5 Bik 8:5Ekigambo ekyo ne kisiimibwa mu maaso g’ekibiina kyonna; ne balonda Suteefano, omuntu eyajjula okukkiriza n’Omwoyo Omutukuvu, ne Firipo, ne Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo, omukyufu ow’e Antiyokiya; 66:6 Bik 1:24; 13:3; 14:23ne babateeka mu maaso g’abatume; ne basaba, ne babassaako emikono.
76:7 Bik 19:20Ekigambo kya Katonda ne kibuna; omuwendo gw’abayigirizwa mu Yerusaalemi ne gweyongerako nnyo; ekibiina kinene ekya bakabona ne bagondera okukkiriza.
8Suteefano bwe yajjula ekisa n’amaanyi n’akolanga amagero n’obubonero obunene mu bantu. 9Naye ne bayimuka abantu abamu ab’ekkuŋŋaaniro eriyitibwa ery’Abalibettino, n’ery’Abakuleene n’ery’Abalegezanderiya n’ery’Abakirukiya n’ery’Abasiya, nga bawakana ne Suteefano: 106:10 Luk 21:15so tebaayinza kusobola magezi n’Omwoyo bye yayogeza. 116:11 Mat 26:60-66Awo ne baweerera abantu abaagamba nti Twawulira oyo ng’ayogera ebigambo eby’okuvuma Musa ne Katonda. 12Ne bakubiriza abantu, n’abakadde n’abawandiisi, ne bajja gy’ali, ne bamukwata, ne bamutwala mu lukiiko, 136:13 Yer 26:11ne bayimiriza abajulirwa ab’obulimba abaagamba nti Omuntu oyo taleka kwogera bigambo ku kifo kino ekitukuvu n’amateeka: 14kubanga twamuwulira ng’agamba nti Yesu Omunazaaleesi oyo alizikiriza ekifo kino, aliwaanyisa n’empisa ze twaweebwa Musa. 15Bwe baamwekaliriza amaaso, bonna abaali batudde mu lukiiko ne bamulaba amaaso ge nga gafaanana ng’aga malayika.