Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

5
1Naye omuntu erinnya lye Ananiya ne Safira mukazi we n’atunda ebibye, 25:2 Bik 4:37ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ng’amanyi, n’aleetako kitundu butundu n’ateeka ku bigere by’abatume. 35:3 Yok 13:2Naye Peetero n’agamba nti Ananiya, Setaani akujjulizza ki omutima gwo okulimba Omwoyo Omutukuvu, ne weeterekerako ku muwendo gw’ennimiro? 4Bwe yali eyo, teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Kiki ekikuteesezza mu mutima okukola bw’oti? Tolimbye bantu, naye Katonda. 5Ananiya bwe yawulira ebigambo ebyo, n’agwa n’atondoka. Entiisa nnyingi n’ekwata bonna abaawulira ebyo. 6Abalenzi ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika.
7Awo olwatuuka waali wayiseewo essaawa ssatu mukazi we naye n’ayingira nga tamanyi bwe bibadde. 8Peetero n’amuddamu nti Mbuulira, mwatunda ennimiro omuwendo bwe gutyo? N’agamba nti Weewaawo, bwe guti. 9Naye Peetero n’amugamba nti Kiki ekibatabaganyizza okukema Omwoyo gwa Mukama? Laba, ebigere byabwe abaziise balo biri ku luggi, banaakutwala naawe. 10Amangu ago n’agwa ku bigere bye, n’atondoka: abalenzi bwe baayingira ne bamusanga ng’afudde, ne bamutwala ne bamuziika wamu ne bba. 11Entiisa nnene n’ekwata ekkanisa yonna ne bonna abaawulira ebyo.
125:12 Bik 3:11Obubonero n’eby’amagero bingi ne bikolebwanga n’emikono gy’abatume mu bantu; bonna baali mu kisasi kya Sulemaani n’omwoyo gumu. 13So n’abalala tewaali n’omu eyayaŋŋanga okwegatta nabo; naye abantu ne babagulumizanga; 145:14 Bik 2:47; 6:7; 21:20abakkiriza ne beeyongeranga okwegatta ne Mukama waffe, bangi abasajja n’abakazi; 155:15 Bik 9:11,12, Mak 6:56n’okuleeta ne baleetanga mu makubo abalwadde ne babateekanga ku mikeeka ne ku bitanda, Peetero bw’anajja ekisiikirize kye kituuke ku bamu. 16Era ebibiina ne bikuŋŋaananga nga biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, nga baleeta abalwadde n’abaali babonyaabonyezebwa dayimooni; ne bawonyezebwanga bonna.
175:17 Bik 4:1,6Naye n’ayimuka kabona asinga obukulu ne bonna abaali naye (kye kitundu eky’Abasaddukaayo), ne bajjula obuggya, 18ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera ly’abantu bonna. 195:19 Bik 12:7Naye malayika wa Mukama ekiro n’aggulawo enzigi ez’ekkomera, n’abafulumya, n’agamba nti 20Mugende, muyimirire, mubuulire mu yeekaalu abantu ebigambo byonna eby’obulamu buno. 21Bwe baawulira ne bayingira mu yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza. Naye kabona asinga obukulu n’ajja n’abaali naye, n’ayita olukiiko n’abakadde bonna ab’abaana ba Isiraeri, n’atuma mu kkomera okubaleeta. 22Naye abaami abaagenda tebaabasanga mu kkomera, ne bakomawo, ne boogera 23nga bagamba nti Ekkomera tusanze nga lisibiddwa bulungi ddala n’abakuumi nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tugguddewo, tetusanzeemu muntu. 24Bwe baawulira ebigambo ebyo omukulu wa yeekaalu ne bakabona abakulu, ne basoberwa mu bweraliikirivu bwabwe ekigambo kino nga bwe kijja okubuna. 25Omuntu n’ajja n’ababuulira nti Laba, abantu bali be mwateese mu kkomera bali mu yeekaalu bayimiridde nga bayigiriza abantu. 26Awo omukulu n’abaami ne bagenda ne babaleeta, si lwa maanyi, kubanga baali batya abantu baleme okubakuba amayinja. 27Ne babaleeta ne babateeka mu maaso g’olukiiko. Kabona asinga obukulu n’ababuuza 285:28 Mat 27:25, Bik 4:18ng’agamba nti Okulagira twabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo: era, laba, mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, ne mwagala okuleeta ku ffe omusaayi gw’omuntu oyo. 295:29 Bik 4:19, Dan 3:18Naye Peetero n’abatume ne baddamu ne bagamba nti Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu. 305:30 Ma 21:22, Bik 3:15Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu gwe mwatta mmwe bwe mwamuwanika ku muti. 315:31 Bik 2:33, Beb 2:10; 12:2Oyo Katonda yamulinnyisa ku mukono gwe ogwa ddyo okubeera omukulu era omulokozi, okuwaayo eri Isiraeri okwenenya n’okuggibwako ebibi: 325:32 Luk 24:48, Yok 15:26,27naffe ffe bajulirwa b’ebigambo ebyo, era n’Omwoyo Omutukuvu, Katonda gwe yawa abamugondera.
335:33 Bik 7:54Naye bo bwe baawulira ne balumwa nnyo, ne baagala okubatta. 345:34 Bik 22:3Naye omuntu n’ayimirira mu lukiiko, Omufalisaayo, erinnya lye Gamalyeri, omuyigiriza w’amateeka, alina ekitiibwa mu bantu bonna, n’alagira bazze abasajja ebweru akaseera: 35n’abagamba nti Abasajja Abaisiraeri, mwekuume eby’abantu bano, kye mugenda okubakolako. 365:36 Bik 21:38Kubanga edda mu biro ebyayita Syuda yagolokoka ng’agamba nti ye muntu omukulu, abantu nga bikumi bina ne beegatta naye: n’attibwa, bonna abaamuwulira ne basaasaana, emirerembe ne gikoma. 375:37 Luk 2:2Oluvannyuma lwe n’agolokoka Yuda Omugaliraaya mu nnaku ez’okuwandiikibwa, n’atwala ekibiina okumugoberera: n’oyo n’abula, bonna abaamuwulira ne basaasaana. 385:38 Mat 15:13Ne kaakano mbagamba nti Mwebalame abantu bano, mubaleke: kubanga okuteesa kuno n’omulimu guno oba nga bivudde mu bantu, birizikirira; 395:39 Bik 9:5naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikiriza; muleme okulabika ng’abalwana ne Katonda. 405:40 Bik 22:19Ne bamuwulira: ne bayita abatume, ne babakuba, ne balagira obutayogeranga mu linnya lya Yesu, ne babata. 415:41 Mat 5:10-12, 1 Peet 4:13Awo ne bava mu maaso g’olukiiko nga basanyuka kubanga basaanyizibbwa okukwatibwa ensonyi olw’Erinnya. 425:42 Bik 18:5Buli lunaku mu yeekaalu ne mu nnyumba eka tebaayosanga kuyigirizanga n’okubuuliranga Yesu nga ye Kristo.