Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

21
1Awo olwatuuka bwe twamala okwawukana nabo ne tuvaayo, ne tukwata ekkubo eggolokofu okutuuka e Koosi, ku lunaku olw’okubiri ne tutuuka e Rodo, ne tuvaayo ne tutuuka e Patala. 2Bwe twasanga ekyombo nga kiwunguka okugenda e Foyiniiki, ne tusaabala ne tugenda. 3Bwe twalengera Kupulo, ne tukireka ku mukono ogwa kkono ne tugenda e Busuuli, ne tugoba e Ttuulo: kubanga eyo ekyombo gye kyayagala okusiikululira ebintu. 421:4 Bik 11:12; 20:23Bwe twalabayo abayigirizwa ne tumalayo ennaku musanvu. Abo ne bagamba Pawulo mu Mwoyo aleme okulinnya mu Yerusaalemi. 521:5 Bik 20:36Awo bwe twamalayo ennaku ezo ne tuvaayo ne tugenda; bonna ne batuwerekerako n’abakazi n’abaana abato okutuuka ebweru w’ekibuga: ne tufukamira ku lubalama lw’ennyanja, ne tusaba; 6ne tusiibulagana, ne tusaabala mu kyombo, naye bo ne baddayo eka.
7Naffe bwe twamala olugendo lwaffe okuva e Ttuulo ne tutuuka e Potolemaayi; ne tulamusa ab’oluganda ne tumala nabo olunaku lumu. 821:8 Bik 8:40Ku lunaku olw’okubiri ne tuvaayo ne tutuuka e Kayisaliya: ne tuyingira mu nnyumba ya Firipo, omubuulizi w’enjiri, omu ku bali omusanvu, ne tutuula naye. 921:9 Bik 2:17Naye oyo yalina abawala bana abatamanyi musajja abaalagulanga. 10Bwe twalwayo ennaku nnyingi, e Buyudaaya n’evaayo omuntu nnabbi erinnya lye Agabo. 1121:11 Bik 20:23N’ajja gye tuli n’addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu ge n’emikono gye n’agamba nti Bw’atyo bw’ayogera Omwoyo Omutukuvu nti Abayudaaya bwe balisiba bwe batyo mu Yerusaalemi omuntu nannyini lukoba luno, balimuwaayo mu mikono gy’ab’amawanga. 1221:12 Mat 16:22Bwe twawulira ebyo, ffe era n’abantu ab’omu kifo kiri ne tumwegayirira aleme okulinnya mu Yerusaalemi. 1321:13 Bik 20:24Awo Pawulo n’alyoka addamu nti Mukola ki okukaaba n’okumenya omutima gwange? Kubanga nze seetegese kusibibwa busibibwa era naye n’okufiira mu Yerusaalemi olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu. 1421:14 Mat 26:39, Yok 21:18Bwe yalema okuwulira ne tulekayo nga tugamba nti Mukama waffe ky’ayagala kikolebwe.
15Awo oluvannyuma lw’ennaku ezo ne tusitula emigugu ne tulinnya e Yerusaalemi. 16Era n’abayigirizwa abaava e Kayisaliya ne bagenda naffe, ne baleeta omuntu Munasoni ow’e Kupulo omuyigirizwa ow’edda, agenda okutusuza.
17Bwe twatuuka mu Yerusaalemi ab’oluganda ne batusembeza n’essanyu. 1821:18 Bik 15:13, Bag 1:19Ku lunaku olw’okubiri Pawulo n’ayingira wamu naffe omwa Yakobo; era n’abakadde bonna baaliwo. 19Bwe yamala okubalamusa n’ababuulira kinnakimu Katonda bye yakolanga mu mawanga mu kuweereza kwe. 2021:20 Bik 15:1Nabo bwe baawulira ne bagulumiza Katonda; ne bamugamba nti Olaba, ow’oluganda, enkumi bwe ziri mu Bayudaaya abantu abakkiriza; nabo bonna balina obuggya obw’amateeka: 2121:21 Bik 16:3, Bar 10:4abo babuulirwa ebigambo byo nti ggwe oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu mawanga okuleka Musa, ng’ogamba baleme okukomolanga abaana abato newakubadde okutambuliranga mu mpisa. 22Kale kiki kino? Tebaaleme kuwulira ng’ozze. 23Kale kola nga bwe tukugamba: tulina abasajja bana abeerayirira ekirayiro; 24obatwale abo otukuzibwe wamu nabo, obawe effeeza beemwe emitwe: bonna banaategeera ng’ebigambo bye baabuulirwa ku ggwe tebiriimu; naye nga naawe wennyini weegendereza ng’okwata amateeka. 2521:25 Bik 15:20Naye ab’amawanga abakkiriza twawandiika ne tusala omusango nti beekuumenga mu bintu ebiweebwa eri ebifaananyi n’omusaayi n’ebitugiddwa n’obwenzi. 26Awo Pawulo n’alyoka atwala abantu, ku lunaku olw’okubiri n’atukuzibwa wamu nabo n’ayingira mu yeekaalu okulaga ennaku ez’okutukuza bwe zituuse, okutuusa ekiweebwayo lwe kyaweebwayo olwa buli omu ku bo.
27Awo ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okutuuka, Abayudaaya abaava mu Asiya ne bamulaba mu yeekaalu ne basasamaza ekibiina kyonna ne bamukwata, 2821:28 Bik 6:13, Ez 44:7nga boogerera waggulu nti Abasajja Abaisiraeri, mutuyambe: ono ye muntu oli ayigiriza bonna buli kifo obubi ku bantu ne ku mateeka ne ku kifo kino: era nate aleese Abayonaani mu yeekaalu, ayonoonye ekifo ekitukuvu. 2921:29 Bik 20:4, 2 Tim 4:20Kubanga baali bamaze okulaba Tulofiimo Omuwefeso ng’ali naye mu kibuga: ne bateerera nti Pawulo amuleese mu yeekaalu. 30Ekibuga kyonna ne kyegugumula, abantu ne bakuŋŋaana mbiro; ne bakwata Pawulo ne bamuwalula okumufulumya ebweru wa yeekaalu: amangu ago enzigi ne ziggalwawo. 31Bwe baali basala amagezi okumutta, ebigambo ne bituuka ku mwami omukulu w’ekitongole ekya basserikale nti Yerusaalemi kyonna kyefuukudde. 32Amangu ago n’atwala basserikale n’abaami n’aserengeta gye baali mbiro: nabo bwe baalaba omwami omukulu n’abaserikale ne baleka okukuba Pawulo. 3321:33 Bik 21:11; 20:23Awo omwami omukulu n’alyoka asembera n’amukwata, n’alagira okumusibya enjegere bbiri; n’abuuza nti ye ani, ne ky’akoze ki. 34Abamu ab’omu kibiina ne boogerera waggulu bulala abalala bulala: bw’ataayinza kutegeera mazima olw’okuleekaana, n’alagira okumutwala mu kigo. 35Bwe yatuuka ku madaala, n’alyoka asitulibwa basserikale olw’amaanyi g’ekibiina: 3621:36 Bik 22:22, Luk 23:18kubanga ekibiina ky’abantu baali bagoberera nga boogerera waggulu nti Mutte.
37Pawulo bwe yali anaatera okuyingizibwa mu kigo n’agamba omwami omukulu nti Kirungi mbeeko kye nkubuulira? N’agamba nti Omanyi Oluyonaani? 3821:38 Bik 5:36,37Kale si ggwe Mumisiri oli mu nnaku ezaayita eyajeemesa abantu enkumi ennya ku Batemu bali, n’abatwala mu ddungu? 3921:39 Bik 9:11Naye Pawulo n’agamba nti Nze ndi muntu Muyudaaya, ow’e Taluso eky’omu Kirukiya, si wa mu kibuga ekitali kimanyifu: era nkwegayiridde, ndeka njogere n’abantu. 40Bwe yamukkiriza, Pawulo n’ayimirira ku madaala n’awenya n’omukono abantu: bwe baamala okusiriikirira ddala, n’ayogera mu lulimi Olwebbulaniya ng’agamba nti