Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

19
1Awo olwatuuka Apolo bwe yali e Kkolinso, Pawulo bwe yayitira mu njuyi eziri waggulu n’atuuka mu Efeso n’asanga abayigirizwa abamu: 219:2 Bik 2:38n’abagamba nti Mwaweebwa Omwoyo Omutukuvu bwe mwakkiriza? Ne bamugamba nti Nedda, n’okuwulira tetuwuliranga nti waliwo Omwoyo Omutukuvu. 3N’agamba nti Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki? Ne bagamba nti Mu kubatizibwa kwa Yokaana. 419:4 Mat 3:11Pawulo n’ayogera nti Yokaana yabatiza okubatiza okw’okwenenya, ng’agamba abantu bakkirize agenda okujja ennyuma we, ye Yesu. 5Bwe baawulira ne babatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu. 619:6 Bik 8:17; 10:44,46Pawulo bwe yabassaako emikono, Omwoyo Omutukuvu n’ajja ku bo, ne boogera ennimi ne balagula. 7Abantu bonna baali nga kkumi na babiri.
8N’ayingira mu kkuŋŋaaniro n’ayogeranga n’obuvumu okumala emyezi esatu, ng’awakananga era ng’asendasendanga olw’ebigambo eby’obwakabaka bwa Katonda. 919:9 2 Tim 1:15, Bik 9:2, Tit 3:10,11, 2 Kol 6:17, 2 Yok 1:10Naye abamu bwe baakakanyala ne batawulira, nga bavumanga Ekkubo mu maaso g’ekibiina, n’ava gye baali, n’ayawula abayigirizwa, ng’awakaniranga buli lunaku mu ssomero lya Tulaano. 10Ebyo ne bimala emyaka ebiri, ne bonna abaali batuula mu Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama waffe, Abayudaaya n’Abayonaani. 1119:11 Bik 14:3Katonda n’akolanga eby’amagero ebitalabwa buli lunaku mu mikono gya Pawulo, 12n’abalwadde ne baleeterwanga ebiremba n’engoye ez’okumubiri gwe, endwadde ne zibavangako, dayimooni n’abavangako. 1319:13 Luk 9:49Naye era abantu Abayudaaya abataliiko waabwe, abagoba dayimooni, ne beetulinkirira okwogera erinnya lya Mukama waffe Yesu ku abo abalina dayimooni, nga bagamba nti Mbalayiza Yesu Pawulo gw’abuulira. 14Awo waaliwo abaana musanvu aba Sukewa Omuyudaaya kabona omukulu, abaakola bwe batyo. 1519:15 Mak 1:34, Luk 4:41Dayimooni n’addamu n’abagamba nti Yesu mmutegeera ne Pawulo mmumanyi; naye mmwe be ani? 16Omuntu eyaliko dayimooni n’ababuukira n’abasinga bonna n’abayinza, n’okudduka ne badduka okuva mu nnyumba eri nga bali bwereere nga balina ebiwundu. 1719:17 Bik 5:5,11Ekyo ne kitegeerwa bonna Abayudaaya n’Abayonaani abaatuulanga mu Efeso; entiisa n’ebakwata bonna, erinnya lya Mukama waffe Yesu ne ligulumizibwa. 18Era bangi ku bo abakkiriza ne bajja, ne baatula ne bategeeza ebikolwa byabwe. 19Era bangi ku bo abaakolanga eby’obufumu ne bakuŋŋaanya ebitabo byabwe, ne babyokera mu maaso gaabwe bonna: ne babala omuwendo gwabyo ne balaba ebitundu bya ffeeza obukumi butaano. 2019:20 Bik 6:7; 12:24Bwe kityo ekigambo kya Mukama waffe ne kyeyongeranga mu maanyi ne kiwangula.
2119:21 Bik 23:11, Bar 1:13Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n’alowooza mu mwoyo okuyitira mu Makedoni ne Akaya, n’okugenda e Yerusaalemi, ng’agamba nti Bwe ndimala okubeera eyo, era kiŋŋwanidde okulaba ne Ruumi. 2219:22 Bik 17:14, Bar 16:23, 1 Kol 4:17N’atuma e Makedoni babiri ku abo abaamuweerezanga, Timoseewo ne Erasuto, ye yennyini n’alwayo ebiro si bingi mu Asiya.
2319:23 Bik 19:9, 2 Kol 1:8,9Mu kiseera ekyo ne wabaawo akacwano si katono olw’Ekkubo. 2419:24 Bik 16:16Kubanga omuntu erinnya lye Demeteriyo, omuweesi wa ffeeza eyakolanga obusabo obwa ffeeza obwa Atemi n’afuniranga abaweesi amagoba si matono; 25n’akuŋŋaanya abo n’abaakolanga emirimu egyo, n’agamba nti Abasajja, mumanyi nti omulimu ogwo obugagga bwaffe mwe buva; 2619:26 Bik 17:29mulaba era muwulira nga si mu Efeso mwokka naye nga mu Asiya yonna Pawulo oyo asenzesenze era akyusizza ekibiina kinene, ng’agamba nti Abakolebwa n’emikono si bakatonda. 27Naye si ffe fekka tulabye akabi omulimu gwaffe okunyoomebwanga, era naye n’essabo lya Atemi katonda omukulu omukazi okulowoozebwanga nga si kintu, n’oyo n’okuggibwa n’aggibwa mu kitiibwa kye, asinzibwa Asiya yonna n’ensi zonna. 28Bwe baawulira ne bajjula obusungu ne boogerera waggulu nga bagamba nti Atemi w’Abaefeso mukulu. 2919:29 Bik 20:4Ekibuga kyonna ne kijjula okwetabula kuno; ne bafubutuka n’omwoyo gumu okutuuka mu Teyatero, bwe baamala okukwata Gayo ne Alisutaluuko, ab’e Makedoni, abaatambulanga ne Pawulo. 30Pawulo bwe yayagala okuyingira mu bantu, abayigirizwa ne batamukkiriza. 31Era abakulu abamu aba Asiya, abaali mikwano gye, ne bamutumira nga bamwegayirira aleme okwewaayo mu teyatero. 32Abamu ne boogerera waggulu bulala, n’abalala bulala, kubanga ekibiina kyali kyetabudde, so n’abalala bangi ne batategeera nsonga ebakuŋŋaanyizza. 33Ne baggya Alegezanda mu kibiina, Abayudaaya nga bamusindiikiriza. Alegezanda n’abawenya n’omukono n’ayagala okwennyonnyola eri abantu. 34Naye bwe baamutegeera nga Muyudaaya, bonna ne boogerera waggulu n’eddoboozi limu okumala ng’essaawa bbiri nti Atemi w’Abaefeso mukulu. 35Omuwandiisi bwe yasirisa ekibiina, n’agamba nti Abasajja Abaefeso, muntu ki atategeera ng’ekibuga ky’Abaefeso kye kikuuma essabo lya Atemi omukulu n’ekifaananyi ekyava eri Zewu. 36Kale kubanga ebyo tebyegaanika, kibagwanidde mmwe okukkakkana n’obutakola kintu mu kwanguyiriza. 37Kubanga muleese abantu bano abatanyaze bya mu ssabo so era tebavvodde katonda waffe omukazi. 38Kale oba nga Demeteriyo n’abaweesi abali naye balina ekigambo ku muntu, enkiiko weeziri n’abaamasaza weebali: baloopagane. 39Naye oba nga munoonya birala, binaasalirwa mu kkuŋŋaaniro eribaawo bulijjo. 40Kubanga ddala tuyinza okutuukwako akabi olw’akeegugungo kano aka leero, kubanga tewali nsonga gye tuliyinza kuwoza olw’okukuŋŋaana kuno. 41Bwe yayogera bw’atyo n’ayabulula ekibiina.