Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

18
1Awo oluvannyuma lw’ebyo n’ava mu Asene n’atuuka e Kkolinso. 218:2 Bar 16:3N’alaba omuntu Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalirwa mu Ponto, yali kyajje ave mu Italiya, ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulwawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Ruumi: n’ajja gye baali; 318:3 Bik 20:34, 1 Kol 4:12era kubanga baalina omulimu gumu n’abeeranga nabo ne bakolanga omulimu; kubanga omulimu gwabwe baali bakozi ba weema. 4N’awakaniranga mu kkuŋŋaaniro buli ssabbiiti, n’asendasendanga Abayudaaya n’Abayonaani. 518:5 Bik 17:14,15Naye Siira ne Timoseewo bwe baava e Makedoni, Pawulo n’awalirizibwa ekigambo, ng’ategeeza Abayudaaya nga Yesu ye Kristo. 618:6 Bik 13:46,51; 20:26Bwe baamutangira ne bamuvuma, n’akunkumula engoye ze n’abagamba nti Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe: nze ndi mulongoofu: okutanula kaakano nnaagenda eri ab’amawanga. 7N’avaayo, n’ayingira mu nnyumba y’omuntu erinnya lye Tito Yusito, atya Katonda, ennyumba ye eriraanye ekkuŋŋaaniro. 818:8 1 Kol 1:14Era Kulisupo, omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’akkiriza Mukama waffe n’ennyumba ye yonna; n’Abakkolinso bangi bwe baawulira ne bakkiriza ne babatizibwa. 918:9 1 Kol 2:3Mukama waffe n’agamba Pawulo ekiro mu kwolesebwa nti Totya, naye yogeranga, tosirikanga, 1018:10 Yos 1:5,9, Is 41:10; 43:5, Yer 1:8, Kos 2:23, Yok 10:16kubanga nze ndi wamu naawe, so tewali muntu anaakulumbanga okukukola obubi: kubanga nnina abantu bangi mu kibuga muno. 11N’amalayo mwaka n’emyezi mukaaga ng’ayigirizanga ekigambo kya Katonda mu bo.
12Naye Galiyo bwe yali nga ye wessaza ly’e Akaya, Abayudaaya ne balumba Pawulo n’omwoyo gumu ne bamuleeta awasalirwa emisango, 13nga bagamba nti Ono asendasenda abantu okusinza Katonda ng’amateeka bwe gatalagira. 1418:14 Bik 25:18-20Naye Pawulo bwe yali agenda okwasama akamwa ke, Galiyo n’agamba Abayudaaya nti Singa wabaddewo okusobya oba kwonoona okubi, mmwe Abayudaaya, nandibagumiikirizza: 1518:15 Yok 18:31naye oba nga waliwo okubuuzagana okw’ebigambo: n’amannya n’amateeka agali mu mmwe, ekyo kyammwe: nze saagala kusala musango gw’ebyo. 16N’abagoba awasalirwa emisango. 1718:17 1 Kol 1:1Bonna ne bakwata Sossene omukulu w’ekkuŋŋaaniro ne bamukubira awasalirwa emisango. Era Galiyo teyafaayo mu bigambo ebyo.
1818:18 Bik 21:24, Kubal 6:9,18Pawulo n’amalayo ennaku nnyingi endala nate, n’asiibula ab’oluganda n’avaayo n’awanika amatanga okugenda e Busuuli, era wamu naye Pulisikira ne Akula; bwe yamala okumwera enviiri mu Kenkereya; kubanga yeerayirira. 19Ne batuuka mu Efeso, bali n’abaleka eyo; naye ye yennyini n’ayingira mu kkuŋŋaaniro n’awakana n’Abayudaaya. 20Bwe baamwagala okweyongera okutuula n’atakkiriza; 2118:21 Bar 1:10, 1 Kol 4:19, Yak 4:15naye n’abasiibula n’agamba nti Ndikomawo nate gye muli Katonda ng’ayagadde, n’awanika amatanga n’avaayo mu Efeso. 2218:22 Bik 21:15N’agoba e Kayisaliya, n’alinnya n’alamusa ab’ekkanisa, n’aserengeta okutuuka Antiyokiya. 23Bwe yamalayo ebiro si bingi n’avaayo, n’ayitira mu nsi y’e Ggalatiya n’e Fulugiya, ng’ava kumu, ng’agumya abayigirizwa bonna.
2418:24 1 Kol 3:6Awo omuntu Omuyudaaya erinnya lye Apolo eyazaalirwa mu alegezandereya, omuntu eyayigirizibwa, oyo n’atuuka mu Efeso, eyali omugezi mu byawandiikibwa. 2518:25 Bik 19:3, Bar 12:11, Kub 3:15Oyo yali ng’abuliddwa ekkubo lya Mukama waffe, ng’ayaka mu mwoyo n’ayogera n’ayigiriza nnyo ebigambo bya Yesu, ng’amanyi okubatiza kwa Yokaana kwokka: 26oyo n’atanula okwogera n’obugumu mu kkuŋŋaaniro. Naye Pulisikira ne Akula bwe baawulira ne bamutwala gye bali, ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda. 2718:27 2 Kol 3:1, Bak 4:10Bwe yayagala okuwunguka okutuuka Akaya, ab’oluganda ne bamugumya ne bawandiikira abayigirizwa okumusembeza: bwe yatuuka n’abayambanga nnyo abakkiriza olw’ekisa: 28kubanga yasinganga Abayudaaya amaanyi amangi mu maaso g’abantu, ng’ategeezanga mu byawandiikibwa nga Yesu ye Kristo.