Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

17
117:1 1 Bas 2:2Ne Bayita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Ssessaloniika eyali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya: 2awo Pawulo nga bwe yali empisa ye n’ayingira mu bo, mu ssabbiiti ssatu n’awakana nabo mu byawandiikibwa, 317:3 Luk 24:26,27,45,46ng’abikkula ng’ategeeza nti Kristo kyamugwanira okubonyaabonyezebwa n’okuzuukira mu bafu; era nti Oyo Yesu nze gwe mbabuulira ye Kristo. 4Abamu ku bo ne bakkiriza ne beegatta ne Pawulo ne Siira; n’Abayonaani abeegendereza ekibiina kinene n’abakyala abakulu si batono. 5Naye Abayudaaya bwe baakwatibwa obuggya ne batwala abantu ababi ab’omu bakopi ne bakuŋŋaanyisa abantu ne basasamaza ekibuga. Ne bazingiza ennyumba ya Yasooni ne baagala okubaleeta mu maaso g’abantu. 617:6 Luk 23:2, Yok 19:12, Bar 16:21Bwe bataabalaba, ne bawalula Yasooni n’ab’oluganda abamu okubatwala mu maaso g’abakulu ab’omu kibuga nga boogerera waggulu nti Bano abavuunika ensi bazze ne wano; 7ne Yasooni yabasembezezza. Bano bonna bajeemera amateeka ga Kayisaali nga bagamba nti Waliwo kabaka omulala, Yesu. 8Ne basasamaza ekibiina n’abakulu ab’omu kibuga bwe baawulira ebyo. 9Bwe baamala okweyimiriza Yasooni n’abalala ne babata.
10Amangu ago ab’oluganda ne basindika kiro Pawulo ne Siira okugenda e Beroya: nabo bwe baatuuka eyo ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. 1117:11 Yok 5:39Naye bano baali balungi okusinga ab’e Ssessaloniika, kubanga bakkiriza ekigambo n’omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo. 12Abamu bangi kyebaava bakkiriza, era n’abakazi abakyala Abayonaani n’abasajja si batono. 1317:13 1 Bas 2:14Naye Abayudaaya ab’e Ssessaloniika bwe baategeera ng’ekigambo kya Katonda kibuuliddwa Pawulo era mu Beroya, era ne bajjayo ne baweerera ebibiina ne babasasamaza. 1417:14 Bik 16:1Awo amangu ago ab’oluganda ne basindika Pawulo okugenda okutuuka ku nnyanja: Siira ne Timoseewo ne babeera eyo. 15Naye abaawerekera Pawulo ne bamuleeta mu Asene, ne balagirwa okugamba Siira ne Timoseewo bajje gy’ali amangu nga bwe bayinza amangu, ne bagenda.
16Naye Pawulo bwe yali mu Asene ng’abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yalaba ekibuga nga kujjudde ebifaananyi. 17Awo n’awakaniranga mu kkuŋŋaaniro n’Abayudaaya n’abaali batya Katonda era ne mu katale buli lunaku n’abo abaamusisinkananga. 1817:18 1 Kol 4:12Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bagamba nti Ayagala kwogera ki abujjabujjana ono? Abamu ne bagamba nti Afaanana ng’abuulira balubaale abaggya: kubanga yali ng’abuulira Yesu n’okuzuukira. 19Ne bamutwala ne bamuleeta ku Aleyopaago nga bagamba nti tunaayinza okutegeera okuyigiriza kuno okuggya kw’oyogera nga bwe kuli? 20Kubanga oleeta ebigambo ebiggya mu matu gaffe: kyetuva twagala okutegeera amakulu g’ebigambo bino. 21(Abaasene bonna n’abagenyi abaabangayo tebaakolanga kintu kirala wabula okwogeranga oba kuwuliranga ekigambo ekiggya.) 22Pawulo n’ayimirira wakati wa Aleyopaago n’agamba nti
Abasajja Abaasene, mbalabye mu byonna nga mutya nnyo balubaale. 23Kubanga bwe mbadde mpita ne ntunuulira bye musinza, era ne nsanga ekyoto ekiwandiikiddwako nti KYA KATONDA ATATEGEERWA. Kale kye musinza nga temukitegeera nze kye mbabuulira. 2417:24 1 Bassek 8:27, Is 42:5, Mat 11:25, Bik 7:48Katonda eyakola ensi n’ebirimu byonna, oyo kubanga ye Mukama w’eggulu n’ensi tabeera mu masabo agakolebwa n’emikono, 2517:25 Zab 50:12so taweerezebwa mikono gya bantu, ng’eyeetaaga ekintu, kubanga oyo ye abawa bonna obulamu n’okussa omukka ne byonna; 2617:26 Ma 32:8yakola okuva ku omu buli ggwanga ly’abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna, bwe yalagira n’ayawulamu ebiro n’ensalo ez’okutuula kwabwe: 2717:27 Is 55:6banoonyenga Katonda mpozzi bawammante okumulaba, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe: 2817:28 Zab 145:18, Bik 19:26, 1 Kol 12:2kubanga mu oyo tuba balamu, tutambula, tubeerawo; era ng’abamu ab’ewammwe abayiiya bwe bagamba nti Kubanga era tuli zzadde lye. 29Kale bwe tuli ezzadde lya Katonda, tekitugwanira kulowoozanga nti Katonda afaanana zaabu oba ffeeza oba jjinja, ebyolebwa n’obukabakaba n’amagezi g’abantu. 3017:30 Bik 14:16; 17:23, Luk 24:27Kale Katonda ebiro ebyo eby’obutamanya teyabitunuuliranga; naye kaakano alagira abantu bonna abali wonna wonna okwenenya, 3117:31 Zab 9:8; 96:13, Bik 10:42, Bar 10:14kubanga yateekawo olunaku lw’agenda okusaliramu omusango ogw’ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu.
32Naye bwe baawulira okuzuukira kw’abafu abamu ne baŋoola; abalala ne bagamba nti Era tulikuwulira nate olw’ekigambo ekyo. 33Bwe batyo Pawulo n’abavaamu wakati. 34Naye abasajja abamu ne beegatta naye ne bakkiriza: mu abo Diyonusiyo Omwaleyopaago, n’omukazi erinnya lye Damali n’abalala wamu nabo.