Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

16
116:1 Bik 17:14; 19:22, 2 Tim 1:5, Baf 2:19-22Era n’atuuka e Derube ne Lusitula: laba, yaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo, omwana w’omukazi Omuyudaaya eyakkiriza: naye kitaawe Muyonaani: 216:2 Bik 6:3eyasiimibwa ab’oluganda abaali mu Lusitula ne Ikonio. 3Oyo Pawulo n’ayagala okugenda naye; n’amutwala n’amukomola olw’Abayudaaya abaali mu bifo ebyo: kubanga bonna baamumanya nga kitaawe yali Muyonaani. 416:4 Bik 15:23-29Bwe baali nga bayita mu bibuga ne babawa okukwatanga ebyalagirwa abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi. 5Awo ekkanisa ne zinywerera mu kukkiriza, ne zeeyongeranga ku muwendo buli lunaku.
616:6 Bik 18:23Ne bayita mu nsi y’e Fulugiya ne Ggalatiya, kubanga baagaanibwa Omwoyo Omutukuvu okwogera ekigambo mu Asiya; 7bwe baatuuka okumpi ne Musiya, ne bagezaako okugenda mu Bisuniya, n’Omwoyo gwa Yesu n’atabaganya; 8ne beekooloobya Musiya, ne batuuka e Tulowa. 9Pawulo n’alaba okwolesebwa ekiro, omuntu Omumakedoni ng’ayimiridde era ng’amwegayirira ng’agamba nti Wunguka okutuuka e Makedoni otuyambe. 10Bwe yamala okulaba okwolesebwa, amangu ago ne tusala amagezi okusitula okugenda e Makedoni, nga tutegeera nti Katonda atuyise okubabuulira enjiri.
11Kyetwava tusaabala okuva e Tulowa ne tukwata ekkubo eggolokofu okutuuka e Samoserakiya, ku lunaku olw’okubiri ne tutuuka e Neyapoli; 12ne tuvaayo okutuuka e Firipi, kye kibuga eky’e Makedoni ekisookerwako mu njuyi ezo, ekyazimbibwa Abaruumi: ne tubeera mu kibuga omwo ne tulwamu ennaku. 13Awo ku lunaku lwa ssabbiiti ne tufuluma mu mulyango gw’ekibuga okugenda ku mugga bwe twalowooza nga yaliyo ekifo eky’okusabirangamu: ne tutuula ne twogera n’abakazi abaakuŋŋaana. 1416:14 Yok 6:44Awo omukazi erinnya lye Ludiya, omutunzi w’engoye ez’effulungu, wa mu kibuga Suwatira, eyasinzanga Katonda, n’atuwulira: Mukama waffe n’amubikkula omutima gwe okuwuliriza Pawulo bye yayogera. 15Bwe yabatizibwa ye n’ennyumba ye, n’atwegayirira ng’agamba nti Oba nga munsiimye okuba omwesigwa eri Mukama waffe, muyingire mu nnyumba yange mubeere omwo. N’atuwaliriza.
1616:16 Bik 19:24Awo olwatuuka bwe twali tugenda wali awaasabirwanga, omuwala eyaliko dayimooni alagula n’atusanga, eyafuniranga bakama be ebintu ebingi olw’okulagula. 1716:17 Mak 1:24,34Oyo bwe yagoberera Pawulo naffe n’ayogerera waggulu ng’agamba nti Abantu bano baddu ba Katonda Ali waggulu ennyo, abababuulira ekkubo ery’obulokozi. 1816:18 Bik 19:13, Mak 16:17N’akolanga bw’atyo ennaku nnyingi. Naye Pawulo, bwe yanakuwala ennyo, n’akyuka n’agamba dayimooni nti Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo omuveeko. N’amuvaako mu kiseera ekyo.
19Naye bakama be bwe baalaba ng’essuubi ly’ebintu byabwe liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babawalula okubatwala mu katale eri abakulu, 2016:20 Bik 17:6, 1 Bassek 18:17ne babatwala eri abalamuzi ne bagamba nti Abantu bano basasamaza nnyo ekibuga kyaffe, kubanga Bayudaaya, 21era bayigiriza empisa ez’omuzizo ffe okuzikwatanga newakubadde okuzikolanga kubanga tuli Baruumi. 2216:22 2 Kol 11:25, Baf 1:30, 1 Bas 2:2Ekibiina ne kibagolokokerako wamu: abalamuzi ne babayuliza engoye zaabwe, ne balagira okubakuba emiggo. 23Bwe baabakuba emiggo emingi ne babasindikira mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo: 24oyo bwe yalagirwa bw’atyo n’abasindiikiriza mu kkomera ery’omunda, n’akomerera ebigere byabwe mu nvuba. 25Naye ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira ne basaba ne bayimbira Katonda, abasibe ne babawulira; 26amangu ago ne wabaawo ekikankano kinene n’emisingi gy’ekkomera ne gikankana: amangu ago enzigi zonna ne zigguka; n’ebyali bibasibye bonna ne bisumulukuka. 27Omukuumi w’ekkomera n’azuukuka, bwe yalaba enzigi z’ekkomera nga zigguse n’asowola ekitala kye n’agenda okwetta, kubanga ng’alowooza nti abasibe babombye. 28Naye Pawulo n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’agamba nti Teweekola kabi: kubanga fenna tuli wano. 29N’asaba ettabaaza n’adduka n’ayingira, n’avuunamira Pawulo ne Siira, ng’akankana, 3016:30 Bik 2:37n’abafulumya ebweru n’agamba nti Bassebo, kiŋŋwanidde kukola ntya okulokolebwa? 31Ne bagamba nti Kkiriza Mukama waffe Yesu, onoolokoka ggwe n’ennyumba yo. 32Ne bamubuulira ekigambo kya Mukama waffe ne bonna abaali mu nnyumba ye. 33N’abatwala mu kiseera ekyo ekiro n’abanaaza emiggo; n’abatizibwa ye n’ennyumba ye yonna amangu ago. 34N’abalinnyisa mu nnyumba ye, n’abaleetera emmeeza, n’asanyuka nnyo n’ennyumba ye yonna ng’akkirizza Katonda.
35Naye bwe bwakya enkya, abalamuzi ne batuma basserikale baabwe nga bagamba nti Musumulule abantu abo. 36Omukuumi w’ekkomera n’abuulira Pawulo ebigambo ebyo nti Abalamuzi batumye okubasumulula: kale kaakano mufulume, mugende n’emirembe. 3716:37 Bik 22:25Naye Pawulo n’abagamba nti Batukubidde mu maaso ga bantu nga tetunnasalirwa musango, nga tuli bantu Baruumi, ne batusindiikiriza mu kkomera; ne kaakano batuggyamu kyama? Nedda; naye bajje bennyini batufulumye. 38Basserikale ne babuulira abalamuzi ebigambo bino: ne batya bwe baawulira nga Baruumi: 3916:39 Mat 8:34ne bajja ne babeegayirira, ne babafulumya, ne baagala bave mu kibuga. 40Ne bafuluma mu kkomera, ne bayingira mu nnyumba ya Ludiya, ne balaba ab’oluganda ne babasanyusa ne bavaayo.