Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

15
115:1 Bag 5:2Awo abantu ne bava e Buyudaaya ne bayigiriza ab’oluganda nti Bwe mutaakomolebwenga ng’empisa ya Musa bw’eri, temuyinza kulokoka. 215:2 Bik 11:30, Bag 2:1Bwe waali empaka ennyingi n’okwawukana kw’endowooza wakati wa Pawulo ne Balunabba, ku luuyi olumu, n’abo abaava e Buyudaaya, ne balagira Pawulo ne Balunabba n’abalala ku bo okugenda e Yerusaalemi eri abatume n’abakadde olw’empaka ezo. 3Awo abo bwe baamala okusibirirwa ab’ekkanisa ne bayita mu Foyiniiki ne Samaliya, nga bannyonnyolera ddala okukyuka kw’ab’amawanga: ne basanyusiza ddala ab’oluganda bonna. 415:4 Bik 14:27Bwe baatuuka e Yerusaalemi, ab’ekkanisa n’abatume n’abakadde ne babasembeza, ne babuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo. 5Naye ne bagolokoka abamu ab’omu kitundu ky’Abafalisaayo abakkiriza, nga bagamba nti Kigwana okubakomolanga n’okubalagira okukwatanga amateeka ga Musa.
6Abatume n’abakadde ne bakuŋŋaana okwetegereza ekigambo ekyo. 7Bwe waali okwawukana kw’endowooza kungi, Peetero n’ayimirira n’abagamba nti
Abasajja ab’oluganda, mmwe mumanyi nti okuva mu nnaku ez’edda Katonda yalonda mu mmwe ab’amawanga bawulire mu kamwa kange ekigambo eky’enjiri ne bakkiriza. 8Ne Katonda amanyi emitima n’abategeeza bwe yabawa Omwoyo Omutukuvu era nga ffe; 915:9 Bik 10:34n’atayawula ffe nabo, bwe yalongoosa emitima gyabwe olw’okukkiriza. 1015:10 Bag 3:10; 5:1, Mat 11:30Kale kaakano mukemera ki Katonda, okuteeka ekikoligo mu bulago bw’abayigirizwa bajjajjaffe kye bataayinza kutwala newakubadde ffe? 1115:11 Bag 2:16, Bef 2:4-10Naye tukkiriza okulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era nabo bwe batyo.
12Ekibiina kyonna ne kisirika; ne bawulira Balunabba ne Pawulo nga bannyonnyola obubonero n’eby’amagero byonna Katonda bye yabakozanga mu mawanga. 1315:13 Bik 21:18, Bag 2:9Abo bwe baamala okusirika Yakobo n’addamu ng’agamba nti
Abasajja ab’oluganda, mumpulire.
1415:14 Bik 15:7-9, Luk 1:68Simyoni annyonnyodde Katonda bwe yasooka okutunuulira amawanga okuggiramu erinnya lye abantu. 1515:15 Am 9:11,12Ebigambo bya bannabbi bitabagana n’ebyo nga bwe kyawandiikibwa nti
1615:16 Yer 12:15Oluvannyuma lw’ebyo ndikyuka,
Ndizimba nate eweema ya Dawudi eyagwa;
Okumenyeka kwayo ndikuzimba nate,
Era ndigigolokosa:
17Abantu abasigalawo banoonye Mukama,
N’amawanga gonna abayitibwa erinnya lyange ku bo,
1815:18 Is 45:21Bw’ayogera Mukama, ategeeza ebyo byonna okuva ku lubereberye lw’ensi.
19Kyenva nsalawo tuleme okuteganya abava mu mawanga okukyukira Katonda; 2015:20 Lub 9:4, Leev 3:17; 5:2; 17:10Naye tubawandiikire beewalenga obugwagwa bw’ebifaananyi, n’obwenzi, n’ebitugiddwa, n’omusaayi. 2115:21 Bik 13:15Kubanga okuva edda Musa alina mu buli kibuga abamubuulira, ng’asomebwa mu makuŋŋaaniro buli ssabbiiti.
22Awo ne bakisiima abatume n’abakadde wamu n’ekkanisa yonna okulonda abantu mu bo n’okubatuma e Antiyokiya ne Pawulo ne Balunabba; Yuda ayitibwa Balusaba ne Siira, abantu abakulu mu b’oluganda: 23ne bawandiika ne bagikwasa mu mikono gyabwe nti Abatume n’ab’oluganda abakadde tulamusizza ab’oluganda abali mu Antiyokiya ne Busuuli ne Kirukiya abali mu mawanga: 2415:24 Bik 15:1kubanga tuwulidde nti Abantu abaava ewaffe baabasasamaza n’ebigambo nga bakyusa emmeeme zammwe, be tutalagiranga; 25tusiimye, bwe tutabaganye n’omwoyo gumu, okulonda abantu okubatuma gye muli wamu n’abaagalwa baffe Balunabba ne Pawulo, 26abantu abaasingawo obulamu bwabwe olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo. 27Kyetuvudde tutuma Yuda ne Siira era abalibabuulira obumu bennyini n’akamwa. 2815:28 Mat 23:4Kubanga Omwoyo Omutukuvu yasiima naffe tuleme okubatikka omugugu omunene gwonna wabula bino ebigwana, 29okwewalanga ebiweebwa eri ebifaananyi, n’omusaayi, n’ebitugiddwa, n’obwenzi: bwe muneekuumanga ebyo, munaabanga bulungi. Mweraba.
30Awo bo bwe baasindikibwa ne bajja e Antiyokiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ne babakwasa ebbaluwa. 31Bwe baasoma ne basanyuka olw’okubuulirirwa okwo. 3215:32 Bik 11:27; 13:1Yuda ne Siira, kubanga nabo baali bannabbi, ne babuulirira ab’oluganda mu bigambo bingi, ne babagumya. 33Bwe baamalayo ebiro, ne basiibulwa ab’oluganda n’emirembe okuddayo eri abaabatuma. 34Naye Siira yasiima okusigalayo. 35Naye Pawulo ne Balunabba ne balwayo mu Antiyokiya nga bayigirizanga era nga babuuliranga ekigambo kya Mukama waffe wamu n’abalala bangi era.
3615:36 1 Bas 3:5Ennaku bwe zaayitawo Pawulo n’agamba Balunabba nti Kale tuddeyo tulambule ab’oluganda mu buli kibuga gye twabuulira ekigambo kya Mukama waffe, tulabe nga bwe bali. 3715:37 Bik 12:12,25Balunabba era n’ayagala okutwala Yokaana erinnya lye ery’okubiri Makko: 3815:38 Bik 13:13, Bak 4:10naye Pawulo teyasiima kumutwala oyo eyabaleka mu Panfuliya n’atagenda nabo ku mulimu. 3915:39 Bik 4:36; 13:4Ne wabaawo empaka nnyingi n’okwawukana ne baawukana, Balunabba n’atwala Makko n’awanika amatanga okugenda e Kupulo; 40naye Pawulo n’alonda Siira, n’avaayo, ab’oluganda bwe baamusigira ekisa kya Mukama waffe. 41N’ayita mu Busuuli ne Kirukiya ng’agumya ekkanisa.