Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

14
1Awo olwatuuka mu Ikonio ne bayingirira wamu mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya, ne boogera bwe batyo ekibiina kinene n’okukkiriza ne bakkiriza, Abayudaaya n’Abayonaani. 214:2 Bik 13:45Naye Abayudaaya abataagonda ne baweerera ab’amawanga ne bafuula emmeeme zaabwe okuba embi eri ab’oluganda. 314:3 Bik 19:11, Mak 16:20, Beb 2:4Awo ne bamala ebiro bingi nga babuulira n’obuvumu mu Mukama waffe, eyategeeza ekigambo eky’ekisa kye, ng’abawa obubonero n’eby’amagero okukolebwanga mu mikono gyabwe. 4Naye ekibiina eky’omu kibuga ne kyawukanamu; abamu ne babeera ku ludda lw’Abayudaaya abamu ku ludda lw’abatume. 514:5 Bik 14:19, 2 Tim 3:11Ab’amawanga n’Abayudaaya awamu n’abakulu baabwe bwe baabalumba okubagirira ekyejo, okubakuba amayinja, 614:6 Mat 10:23bwe baategeera ne baddukira mu bibuga eby’e Lukaoniya, Lusitula ne Derube n’ensi eriraanyeewo: 714:7 Bik 11:19,20ne babeera eyo nga babuulira enjiri.
814:8 Bik 3:2; 9:33, Yok 9:1Mu Lusitula yaliyo omuntu nga talina maanyi mu bigere n’abeeranga awo, mulema okuva mu lubuto lwa nnyina nga tatambulangako n’akatono. 914:9 Bik 3:4, Mat 9:28Oyo n’awulira Pawulo ng’ayogera: naye n’amwekaliriza amaaso n’alaba ng’alina okukkiriza okulokoka, 10n’ayogera n’eddoboozi ddene nti Yimirira ku bigere byo, weegolole. N’abuuka n’atambula. 1114:11 Bik 28:6Ebibiina bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga boogera mu lulimi Olulukaoniya nti Bakatonda basse gye tuli nga bafaanana abantu. 12Balunabba ne bamuyita Zewu; ne Pawulo ne bamuyita Kerume, kubanga ye yasinga okwogera. 13Kabona wa Zewu, eyali mu maaso g’ekibuga, n’aleeta ente n’engule ez’ebimuli okutuuka ku luggi ng’ayagala okuwaayo ssaddaaka n’ebibiina. 14Naye abatume Balunabba ne Pawulo bwe baawulira, ne bayuza engoye zaabwe ne bafubutuka ne bagenda mu kibiina, nga boogerera waggulu 1514:15 Kuv 20:11, Zab 146:6, Is 37:16, Yer 32:17, Yak 5:17nga bagamba nti Abasajja, kiki ekibakoza ebyo? Naffe tuli bantu abakwatibwa byonna nga mmwe, era tubabuulira ebigambo ebirungi muleke ebyo ebitaliimu mukyukire Katonda omulamu, eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu: 1614:16 Bik 17:30mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okutambuliranga mu makubo gaago: 1714:17 Zab 147:8, Yer 5:24naye teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng’abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n’ebiro eby’okubalirangamu emmere, ng’ajjuzanga emitima gyammwe emmere n’essanyu. 18Bwe baayogera ebyo, ne baziyiza ebibiina lwa mpaka okubawa ssaddaaka.
1914:19 2 Kol 11:25, 2 Tim 3:11Naye Abayudaaya ne bava mu Antiyokiya ne Ikonio, ne baweerera ebibiina ne bakuba amayinja Pawulo, ne bamuwalulira ebweru w’ekibuga, nga balowooza nti afudde. 20Naye abayigirizwa bwe baamwetoolola n’ayimirira n’ayingira mu kibuga: ku lunaku olw’okubiri n’agenda ne Balunabba okutuuka e Derube. 2114:21 Mat 28:19Bwe baamala okubuulira enjiri mu kibuga ekyo n’okufuula abayigirizwa abangi, ne bakomawo mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya, 2214:22 Bik 11:23, 1 Bas 3:3, Mat 7:14nga banyweza emmeeme z’abayigirizwa, nga bababuulirira okunyiikiriranga mu kukkiriza, era nti olw’okulaba ennaku ennyingi kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 2314:23 Bik 13:3Bwe baamala okulondera abakadde mu buli kkanisa n’okusaba n’okusiiba, ne babasigira Mukama waffe gwe bakkiriza. 24Ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya. 25Bwe baamala okubuulira ekigambo mu Peruga ne baserengeta mu Ataliya; 2614:26 Bik 13:1,2ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka e Antiyokiya; abaayo be baabasigira ekisa kya Katonda olw’omulimu gwe baatuukiriza. 2714:27 1 Kol 16:9, Bik 11:18Bwe baatuuka ne bakuŋŋaanya ekkanisa, ne bababuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo, era nti yaggulirawo ab’amawanga oluggi olw’okukkiriza. 28Ne bamalayo ebiro bingi wamu n’abayigirizwa.