Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

13
113:1 Bik 11:27Mu Antiyokiya mu kkanisa eyaliyo waaliwo bannabbi n’abayigiriza, Balunabba ne Simyoni eyali ayitibwa Niga, ne Lukiyo ow’e Kuleene ne Manaeni eyayonsebwa awamu ne Kerode owessaza, ne Sawulo. 213:2 Bik 9:15Nga baweereza Mukama waffe n’okusiiba, Omwoyo Omutukuvu n’agamba nti Munnondere Balunabba ne Sawulo bakole omulimu gwe mbayitidde. 313:3 Bik 6:6; 14:23, 1 Tim 4:14; 5:22Awo ne basiiba ne basaba ne babassaako emikono ne babatuma.
413:4 Bik 15:39Awo abo bwe baatumibwa Omwoyo Omutukuvu ne baserengeta e Serukiya; ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka e Kupulo. 513:5 Bik 12:12,15; 13:13Bwe baali mu Salamini ne babuulira ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya: ne babeera ne Yokaana okubaweereza. 6Bwe baayita ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo, ne balaba omuntu omulogo, nnabbi ow’obulimba, Omuyudaaya, erinnya lye Balisa; 7eyali awamu n’owessaza Omuruumi Serugiyo Pawulo, omuntu ow’amagezi. Oyo n’ayita Balunabba ne Sawulo, n’ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. 813:8 2 Tim 3:8Naye Eruma omulogo (kubanga erinnya lye bwe livvuunulwa) n’awakana nabo, ng’ayagala okukyamya owessaza mu kukkiriza. 9Naye Sawulo, era ye Pawulo, bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, bwe yamwekaliriza amaaso, 1013:10 Kos 14:9n’agamba nti Ggwe ajjudde obukuusa bwonna n’okukola obubi kwonna, omwana wa Setaani, omulabe w’obutuukirivu bwonna, tolireka kukyamya makubo ga Mukama waffe amagolokofu? 1113:11 Bik 9:8, Yok 9:39Kaakano, laba, omukono gwa Mukama waffe guli ku ggwe, onooba muzibe wa maaso nga tolaba njuba ebiro bingiko. Amangu ago ekifu ne kimugwako, n’enzikiza; n’awammanta n’anoonya abantu ab’okumukwata ku mukono. 12Awo owessaza bwe yalaba bwe kibadde n’akkiriza nga yeewuunya nnyo okuyigiriza kwa Mukama waffe.
1313:13 Bik 12:12,25; 15:18Awo Pawulo ne banne ne bawanika amatanga okuva mu Pafo, ne batuuka e Peruga eky’e Panfuliya: Yokaana n’abalekayo n’addayo e Yerusaalemi. 14Naye bo bwe baayita okuva mu Peruga, ne batuuka mu Antiyokiya eky’e Pisidiya, ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ku lunaku lwa ssabbiiti ne batuula. 1513:15 Bik 15:21Bwe baamala okusoma amateeka n’ebya bannabbi, abakulu b’ekkuŋŋaaniro ne babatumira nga bagamba nti Abasajja ab’oluganda, oba mulina ekigambo eky’okubuulirira abantu, mwogere. 16Pawulo n’ayimirira n’abawenya n’omukono n’agamba nti
Abasajja Abaisiraeri, nammwe abatya Katonda, muwulire. 1713:17 Is 1:2, Kuv 6:1,6; 12:37,41; 14:8Katonda w’abantu bano Abaisiraeri yalonda bajjajjaffe, n’agulumiza abantu bwe baali abagenyi mu nsi y’e Misiri, n’abaggyayo n’omukono ogwagulumizibwa. 1813:18 Kuv 16:35, Kubal 14:34, Ma 1:31N’abagumiikiriza mu ddungu emyaka ng’amakumi ana. 1913:19 Ma 7:1, Yos 14:2Bwe yazikiriza amawanga omusanvu mu nsi ya Kanani, n’abawa ensi yaabwe okuba obutaka okutuusa emyaka ebikumi bina mu ataano. 2013:20 Balam 2:16, 1 Sam 3:20Oluvannyuma lw’egyo n’abawa abalamuzi okutuuka ku nnabbi Samwiri. 2113:21 1 Sam 8:5; 10:21,24Oluvannyuma ne baagala kabaka; Katonda n’abawa Sawulo omwana wa Kiisi wa mu kika kya Benyamini, n’amala emyaka amakumi ana. 2213:22 Zab 89:20, Is 44:28, 1 Sam 13:14; 16:12,13Bwe yamuggyaawo oyo, n’abayimiririza Dawudi okuba kabaka waabwe, gwe yayogerako ng’amutegeeza nti Ndabye Dawudi, omwana wa Yese, omuntu ali ng’omutima gwange bwe gwagala, anaakolanga bye njagala byonna. 2313:23 2 Sam 7:12, Is 11:1Oyo mu zzadde lye nga Katonda bwe yasuubiza, aleetedde Isiraeri Omulokozi Yesu, 2413:24 Luk 3:3Yokaana bwe yasooka okubuulira nga tannaba kujja okubatizibwa okw’okwenenya eri abantu bonna Abaisiraeri. 2513:25 Yok 1:20,27, Luk 3:16, Mak 1:7Naye Yokaana bwe yali anaatera okukomya olugendo lwe, n’agamba nti Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Naye laba, waliwo ajja ennyuma wange, gwe ssisaanira kusumulula ngatto ya mu kigere kye. 2613:26 Zab 107:20, Bik 13:46Ab’oluganda, abaana b’ekika kya Ibulayimu, nammwe mwenna abatya Katonda, ekigambo eky’obulokozi buno kyaweerezebwa waffe. 27Kubanga abatuula mu Yerusaalemi n’abakulu baabwe bwe bataamumanya oyo newakubadde amaloboozi ga bannabbi agasomebwa buli ssabbiiti, kyebaava babituukiriza bwe baamusalira omusango. 2813:28 Mat 27:22,23Bwe bataalaba nsonga ya kumutta, ne basaba Piraato okumutta. 2913:29 Mat 27:59,60Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako ne bamuwanula ku muti ne bamuteeka mu ntaana. 3013:30 Bik 3:15Naye Katonda n’amuzuukiza mu bafu: 3113:31 Bik 1:3n’abalabikira ennaku nnyingi abaayambuka naye okuva e Ggaliraaya okutuuka e Yerusaalemi, be bajulirwa be kaakano eri abantu. 3213:32 Bik 13:23Ffe tubabuulira ebigambo ebirungi, eby’okusuubiza okwasuubizibwa bajjajja 3313:33 Zab 2:7, Beb 1:5; 5:5nti Katonda akutuukirizza eri abaana baffe bwe yazuukiza Yesu; era nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli ey’okubiri nti Ggwe mwana wange, nkuzadde leero. 3413:34 Is 55:3Era kubanga yamuzuukiza mu bafu nga tagenda nate kuddayo mu kuvunda, yagamba bw’ati nti Ndibawa emikisa emitukuvu era egyenkalakkalira egya Dawudi. 3513:35 Bik 2:27, Zab 16:10Kubanga yayogera ne mu Zabbuli endala nti Toliwaayo Mutukuvu wo okuvunda. 3613:36 1 Bassek 2:10, Balam 2:10, Bik 2:29Kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza mu biro bye nga Katonda bwe yateesa, ne yeebaka n’ateekebwa eri bajjajjaabe, n’avunda: 37naye oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda. 3813:38 Bik 10:43, Kubal 15:30, Beb 9:9; 13:20Kale, abasajja ab’oluganda, mutegeere nti ku bw’oyo okuggibwako ebibi kubuuliddwa; 3913:39 Bar 10:4byonna bye mutandiyinzizza kuggibwako mu mateeka ga Musa, ku bw’oyo buli akkiriza abiggibwako. 4013:40 Kaab 1:5Kale mwekuume kireme okujja ku mmwe ekyayogerwa bannabbi nti
41Laba, mmwe abanyooma, mwewuunye, mubule;
Kubanga nze nkola omulimu mu nnaku zammwe
Omulimu gwe mutalikkiriza newakubadde omuntu ng’agubabuulidde nnyo.
42Bwe baafuluma ne babeegayirira okubabuulira ebigambo bino ku ssabbiiti ey’okubiri. 4313:43 Bik 11:23Ekibiina bwe kyasaasaana bangi ku Bayudaaya n’abakyufu abeegendereza ne bagoberera Pawulo ne Balunabba: nabo ne boogera nabo ne babasendanga okunyiikirira mu kisa kya Katonda.
44Awo ku ssabbiiti ey’okubiri ne bakuŋŋaana nga kibuga kyonna okuwulira ekigambo kya Katonda. 4513:45 Bik 13:50; 14:2Naye Abayudaaya bwe baalaba ekibiina, ne bajjula obuggya, ne bawakanya ebyayogerwa Pawulo, nga babivuma. 4613:46 Bik 3:26; 18:6, Mat 10:6, Luk 7:30Pawulo ne Balunabba ne boogera n’obuvumu nti Kyagwana okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda mu mmwe. Kubanga mukisindiikiriza so temweraba kusaanira bulamu obutaggwaawo, laba, tukyukira eri ab’amawanga. 4713:47 Is 49:6Kubanga Mukama yatulagira bw’ati nti
Nkuteeseewo okubanga omusana gw’amawanga,
Obeerenga obulokozi okutuusa ku nkomerero y’ensi.
4813:48 Bik 11:18, Bar 8:29Ab’amawanga bwe baawulira ne basanyuka ne bagulumiza ekigambo kya Katonda: bonna ne bakkiriza abaali baterekeddwa obulamu obutaggwaawo. 49Ekigambo kya Mukama waffe ne kibuna mu nsi eri yonna. 50Naye Abayudaaya ne babaweerera abakyala abeegendereza ab’ekitiibwa, n’abakulu ab’omu kibuga, ne bayigganyisa Pawulo ne Balunabba, ne babagoba mu mbibi zaabwe. 5113:51 Bik 18:6, Mat 10:14Naye ne babakunkumulira enfuufu ey’omu bigere ne bajja okutuuka Ikoniyo. 52Abayigirizwa ne bajjula essanyu n’Omwoyo Omutukuvu.