Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

12
112:1 Bik 4:3Mu biro ebyo kabaka Kerode n’agolola emikono okukola obubi abamu ab’omu kkanisa. 2N’atta n’ekitala Yakobo muganda wa Yokaana. 3Awo bwe yalaba nga Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera okukwata ne Peetero. Ze nnaku ez’emigaati egitazimbulukuswa. 4Bwe yamala okumukwata, n’amussa mu kkomera, n’amuwaayo eri basserikale kkumi na mukaaga okumukuuma kinnabana, ng’ayagala okumutwala mu maaso g’abantu Okuyitako nga kuwedde. 512:5 Yak 5:16Awo Peetero n’akuumirwa mu kkomera: naye ab’ekkanisa ne banyiikiranga okumusabira eri Katonda. 612:6 Bik 5:22,23Ku lunaku Kerode lwe yali ayagala okumutwalayo, mu kiro ekyo Peetero yali nga yeebase wakati w’abaserikale babiri, ng’asibiddwa n’enjegere bbiri, abakuumi baali ku luggi nga bakuuma ekkomera. 712:7 Bik 5:19Laba, malayika wa Mukama n’ayimirira w’ali, okutangaala ne kujjula ekisenge, n’akuba Peetero mu mbiriizi n’amuzuukusa ng’agamba nti Yimuka mangu. Enjegere ne ziva ku mikono ne zigwa. 8Malayika n’amugamba nti Weesibe, oyambale engatto zo. N’akola bw’atyo. N’amugamba nti Yambala ekyambalo kyo, ongoberere. 9N’afuluma, n’amugoberera; so teyamanya nga bya mazima malayika by’akoze, naye yalowooza nti alabye kwolesebwa. 10Bwe baayita ku bakuumi abaasookerwako n’ab’okubiri ne batuuka ku luggi olw’ekyuma oluyitibwako okutuuka mu kibuga: ne lubaggukirawo lwokka: ne bafuluma ne bayita mu kkubo limu; amangu ago malayika n’amuleka. 11Peetero bwe yeddamu n’agamba nti Kaakano ntegedde mazima nga Mukama waffe atumye malayika n’anziya mu mukono gwa Kerode ne mu kusuubira kwonna okw’eggwanga ly’Abayudaaya. 1212:12 Bik 12:25; 15:37Bwe yalowooza n’ajja mu nnyumba ya Malyamu eyali nnyina Yokaana erinnya lye ery’okubiri Makko, mwe baali bakuŋŋaanidde abangi nga basaba. 13Peetero bwe yakonkona ku luggi olw’omu mulyango omuzaana n’ajja okuyitaba, erinnya lye Looda. 14Bwe yategeera eddoboozi lya Peetero n’ataggulawo luggi olw’essanyu, naye n’ayingira mbiro n’agamba nti Peetero ayimiridde ebweru ku luggi. 1512:15 Bik 26:24, Luk 24:37Ne bamugamba nti Olaluse. Naye n’akaliriza nti Weewaawo. Ne bagamba nti Ye malayika we. 16Naye Peetero ne yeeyongera okukonkona: awo bwe baggulawo ne bamulaba ne basamaalirira. 17Naye bwe yabawenya n’omukono okusirika, n’ababuulira Mukama waffe bw’amuggye mu kkomera. N’agamba nti Mubuulire ebyo Yakobo n’ab’oluganda. N’avaayo n’agenda mu kifo awalala. 1812:18 Bik 5:21,22Awo bwe bwakya enkya, basserikale ne beegugumula nnyo nti Peetero nno abadde ki? 19Kerode bwe yamunoonya n’atamulaba n’abuuliriza abakuumi n’alagira okubatta. N’ava mu Buyudaaya okugenda e Kayisaliya n’atuula eyo.
2012:20 1 Bassek 5:9, Ez 27:17N’asunguwalira nnyo ab’e Ttuulo n’ab’e Sidoni: ne bajja gy’ali n’omwoyo gumu; bwe baakwanagana ne Bulasito omukulu w’omu nnyumba ya kabaka, ne basaba okubawa emirembe, kubanga ensi yaabwe eriisibwa bya mu nsi ya kabaka. 21Awo ku lunaku olwalagaanyizibwa Kerode n’ayambala ebyambalo eby’obwakabaka, n’atuula ku ntebe, n’abagamba ebigambo. 2212:22 Ez 28:2Abantu bonna ne boogerera waggulu nti Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu. 2312:23 Dan 5:20Amangu ago malayika wa Mukama n’amukuba, kubanga tawadde Katonda kitiibwa: n’aliibwa envunyu, n’afa.
2412:24 Bik 6:7, Is 55:11Naye ekigambo kya Katonda ne kikula ne kyeyongeranga.
2512:25 Bik 11:29; 12:12; 15:37Balunabba ne Sawulo ne bakomawo okuva e Yerusaalemi, bwe baamala okutuukiriza okuweereza kwabwe, ne baleeta Yokaana erinnya lye ery’okubiri Makko.