Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

10
110:1 Mat 8:5, Bik 27:1Waaliwo omuntu mu Kayisaliya, erinnya lye Koluneeriyo, omwami w’ekitongole ekyayitibwanga Ekitaliano, 2omwegendereza, atya Katonda awamu n’ennyumba ye yonna, eyagabanga ebintu ebingi mu bantu, n’asabanga Katonda ennaku zonna. 310:3 Bik 3:1Oyo n’alaba mu kwolesebwa mu lwatu, nga mu ssaawa ey’omwenda ey’emisana, malayika wa Katonda ng’amuyingirira, ng’amugamba nti Koluneeriyo. 4N’amwekaliriza amaaso n’atya n’agamba nti Kiki, Mukama wange? N’amugamba nti Okusaba kwo n’okugaba kwo birinnye olw’okujjukiza mu maaso ga Katonda. 5Era kaakano tuma abantu e Yopa, oyiteyo omuntu Simooni, erinnya lye ery’okubiri Peetero: 610:6 Bik 9:43oyo yakyazibwa omuntu Simooni, omuwazi w’amaliba, n’ennyumba ye eriraanye ku nnyanja. 7Malayika eyayogera naye bwe yagenda, yayita abaddu be babiri ab’omu nnyumba ne sserikale atya Katonda mu abo abaamuweerezanga bulijjo: 8bwe yamala okubategeeza ebigambo byonna n’abatuma e Yopa.
9Awo ku lunaku olw’okubiri, bwe baali nga batambula abo, nga banaatera okutuuka ku kibuga, Peetero n’alinnya ku nju waggulu okusaba nga mu ssaawa ey’omukaaga. 10N’alumwa enjala n’ayagala okulya. Naye bwe baali nga bajjula, omwoyo gwe ne guwaanyisibwa; 1110:11 11:5-17n’alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ne kimukkira nga kifaanana essuuka ennene, ng’ekwatiddwa ku birenge bina okussibwa, n’essibwa wansi: 12omwali ebisolo byonna ebirina amagulu ana, n’ebyekulula eby’ensi, n’ennyonyi ez’omu bbanga. 13Eddoboozi ne lijja eri ye nti Golokoka, Peetero, osale olye. 1410:14 Ez 4:14, Leev 11:1-47Naye Peetero n’agamba nti Nedda, Mukama wange; kubanga siryanga kya muzizo newakubadde ekibi. 1510:15 Mat 15:11, Mak 7:15,19Eddoboozi nate (ne lijja) gy’ali omulundi ogw’okubiri nti Katonda bye yalongoosa tobifuulanga ggwe bya muzizo. 16Ne kiba bwe kityo emirundi esatu: amangu ago ekintu ne kitwalibwa mu ggulu.
17Awo Peetero bwe yabuusabuusa munda mu ye amakulu g’okwolesebwa kw’alabye bwe gali, laba, abantu abaatumibwa Koluneeriyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni, ne bayimirira ku luggi, 18ne bayita ne babuuza nga Simooni, erinnya lye ery’okubiri Peetero, yakyazibwa omwo. 1910:19 Bik 13:2; 15:28Awo Peetero bwe yali alowooza ku kwolesebwa, Omwoyo n’amugamba nti Laba, abantu basatu bakunoonya. 20Naye golokoka, okke ogende nabo nga tobuusabuusa: kubanga nze mbatumye. 21Peetero n’akka eri abantu n’agamba nti Laba, nze nzuuno gwe munoonya: kiki ekibaleese? 22Ne bagamba nti Koluneeriyo omwami, omuntu omutuukirivu, atya Katonda, eyasiimibwa mu ggwanga lyonna ery’Abayudaaya, yalabulwa malayika omutukuvu okukutumira okujja mu nnyumba ye, awulire ebigambo ebiva mu ggwe. 2310:23 Bik 11:12Awo n’abayingiza n’abaaniriza.
Awo ku lunaku olw’okubiri Peetero n’agolokoka n’asitula wamu nabo, n’ab’oluganda abamu ab’omu Yopa ne bagenda naye. 24Awo ku lunaku olw’okubiri ne bayingira mu Kayisaliya. Koluneeriyo yali ng’abalindirira ng’akuŋŋaanyizza ab’ekika kye n’abaali mikwano gye ennyo. 25Awo Peetero bwe yali anaatera okuyingira Koluneeriyo n’amusisinkana, n’amufukaamirira ku bigere n’asinza. 2610:26 Bik 14:15, Kub 19:10Naye Peetero n’amuyimusa ng’agamba nti Yimirira; nange ndi muntu buntu. 27Ng’ayogera naye n’ayingira n’asanga bangi nga bakuŋŋaanye, 28n’abagamba nti Mumanyi nga si kirungi omuntu Omuyudaaya okwegatta n’ow’eggwanga eddala oba okujja gy’ali; era Katonda yandaga nnemenga okuyita omuntu yenna ow’omuzizo oba omubi. 29Kyenvudde njija ne ssigaana bwe nnayitibwa. Kyenva mbuuza nti Kiki ekimpisizza? 30Awo Koluneeriyo n’agamba nti Kaakano waakayitawo ennaku nnya nnali nga nsaba, okutuusa mu ssaawa eno okusaba okw’omu ssaawa ey’omwenda mu nnyumba yange; laba, omuntu n’ayimirira mu maaso gange eyalina engoye ezimasamasa, 31n’agamba nti Koluneeriyo, okusaba kwo kwawulirwa, okugaba kwo ne kujjukirwa mu maaso ga Katonda. 32Kale tuma e Yopa, oyite Simooni, erinnya lye ery’okubiri Peetero: oyo yakyazibwa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w’amaliba eri okumpi n’ennyanja. 33Awo amangu ago ne nkutumira: n’okola bulungi bw’ozze. Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by’olagiddwa Mukama. 3410:34 Ma 10:17, 1 Sam 16:7, Bar 2:11Awo Peetero n’ayasamya akamwa ke n’agamba nti
Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu: 3510:35 Yok 9:31; 10:16naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza. 3610:36 Zab 107:20; 147:18, Is 52:7, Nak 1:15, Mat 28:18Ekigambo kye yatumira abaana ba Isiraeri, ng’abuulirira emirembe mu Yesu Kristo (ye Mukama w’ebintu byonna) 3710:37 Mat 4:12-17mmwe mukimanyi, ekyayogerwa ekyali mu Buyudaaya bwonna, ekyasookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw’okubatiza kwe yabuulira Yokaana, 3810:38 Is 61:1, Mat 3:16Yesu Omunazaaleesi Katonda bwe yamufukaako amafuta n’Omwoyo Omutukuvu n’amaanyi: eyatambulanga ng’akola bulungi, ng’awonya bonna abaajoogebwanga Setaani; kubanga Katonda yali naye. 3910:39 Ma 21:22Naffe tuli bajulirwa b’ebigambo byonna bye yakola mu nsi y’Abayudaaya ne mu Yerusaalemi; oyo ne bamutta bwe baamuwanika ku muti. 4010:40 1 Kol 15:4-7Oyo Katonda n’amuzuukiriza ku lunaku olw’okusatu n’amulaga mu lwatu, 4110:41 Yok 14:19,22; 15:27, Bik 1:4si mu bantu bonna naye mu bajulirwa Katonda be yalonda olubereberye, be ffe abaalya ne tunywa naye bwe yamala okuzuukira mu bafu. 4210:42 Bik 17:31, Bar 14:9,10, 1 Peet 4:5, 2 Tim 4:1N’atulagira okubuulira abantu n’okutegeeza ng’oyo Katonda gwe yalagira okubeera omusazi w’omusango w’abalamu n’abafu. 4310:43 Is 33:24; 53:5,6, Yer 31:34, Ez 34:16, Dan 9:24Oyo bannabbi bonna bamulangako nga buli amukkiriza aggibwako ebibi olw’erinnya lye.
44Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Omwoyo Omutukuvu n’abagwako bonna abaawulira ekigambo. 45Ne basamaalirira abakkiriza abakomole, bonna abajja ne Peetero, kubanga ne ku mawanga ekirabo eky’Omwoyo Omutukuvu kifukiddwa. 4610:46 Bik 2:4; 19:6, Mak 16:17Kubanga baabawulira nga boogera ennimi ne bagulumiza Katonda. Awo Peetero n’addamu nti 47Omuntu ayinza okugaana amazzi bano obutabatizibwa, bano abaweereddwa Omwoyo Omutukuvu nga ffe? 4810:48 Yok 4:40N’alagira babatizibwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo. Oluvannyuma ne bamwegayirira okumalayo ennaku nnyingiko.