Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

1
11:1 Luk 1:3Ekitabo eky’olubereberye nnakikola, munnange Teefiro, ekya byonna Yesu bye yasooka okukola n’okuyigiriza, 21:2 Luk 6:13okutuusa ku lunaku luli bwe yamala okulagira ku bw’Omwoyo Omutukuvu abatume be yalonda n’atwalibwa mu ggulu. 3Bwe yamala okubonyaabonyezebwa ne yeeraga mu bo nga mulamu, mu bubonero bungi, ng’abalabikira ebbanga ly’ennaku amakumi ana, ng’ayogera eby’obwakabaka bwa Katonda. 41:4 Bik 10:41, Yok 15:26, Luk 24:49Awo bwe yakuŋŋaana nabo n’abalagira baleme okuva mu Yerusaalemi, naye balindirire okusuubiza kwa Kitaawe kwe baawulira gy’ali: 51:5 Mat 3:11kubanga Yokaana yabatiza n’amazzi; naye mmwe mulibatizibwa n’Omwoyo Omutukuvu mu nnaku si nnyingi.
61:6 Luk 24:21, Bik 3:21Awo bwe baakuŋŋaana ne bamubuuza nga bagamba nti Mukama waffe, mu biro bino mw’onookomezaawo obwakabaka eri Isiraeri? 71:7 Mak 13:32N’abagamba nti Si kwammwe okumanya entuuko newakubadde ebiro, Kitaffe bye yateeka mu buyinza bwe ye. 8Naye muliweebwa amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw’alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n’okutuusa ku nkomerero y’ensi. 91:9 Mak 16:19, Luk 24:51, Yok 6:62Bwe yamala okwogera ebyo, nga batunuulira, n’asitulibwa, ekire ne kimutoola okumuggya mu maaso gaabwe. 101:10 Luk 24:4Bwe baali beekaliriza amaaso mu ggulu bw’agenda, laba, abantu babiri ne bayimirira kumpi nabo nga bambadde engoye ezitukula; 111:11 Mat 26:64, Luk 21:27, 1 Tim 3:16, Kub 1:7abaayogera nti Abantu b’e Ggaliraaya kiki ekibayimiriza nga mutunuulira mu ggulu? Oyo Yesu abaggiddwako okutwalibwa mu ggulu alijja bw’atyo nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu.
121:12 Luk 24:50-53Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi ng’olugendo olw’oku ssabbiiti. 131:13 Luk 6:13-16Awo bwe baayingira ne balinnya mu kisenge ekya waggulu, we baatuulanga; Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne Andereya, Firipo ne Tomasi, Battolomaayo ne Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Simooni Zerote, ne Yuda omwana wa Yakobo. 141:14 Bik 2:1, Yok 7:3-5, Mat 13:55Abo bonna baali nga banyiikira n’omwoyo gumu mu kusaba, wamu n’abakazi ne Malyamu nnyina Yesu, ne baganda be.
15Mu nnaku ezo Peetero n’ayimirira wakati mu b’oluganda n’ayogera (ekibiina ky’abantu abaakuŋŋaana baali nga kikumi mu abiri) nti 161:16 Zab 41:9, Bik 13:26Abasajja ab’oluganda, kyagwana ekyawandiikibwa kituukiririzibwe, Omwoyo Omutukuvu kye yayogera edda mu kamwa ka Dawudi, ku Yuda, eyali omusaale waabwe abaakwata Yesu; 17kubanga yabalirwa wamu naffe, n’aweebwa omugabo gw’okuweereza kuno. 181:18 Mat 27:3-10(Oyo n’agula ennimiro n’empeera ey’obubi bwe; n’agwa nga yeevuunise, n’ayabikamu wakati, ebyenda byonna ne biyiika. 19Ne kitegeerekeka eri abo bonna abaali mu Yerusaalemi: ennimiro eyo mu lulimi lwabwe n’okuyitibwa n’eyitibwa Akerudama, ye nnimiro ey’omusaayi.) 201:20 Zab 69:25; 109:8Kubanga kyawandiikibwa mu kitabo kya Zabbuli nti
Ekibanja kye kizike,
So kireme okubeerangamu omuntu: era nti
Obukulu bwe buweebwe omulala.
211:21 Yok 15:27Kale kigwanye mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna bwe yayingiranga n’avanga gye tuli Mukama waffe Yesu 22okuva ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa ku lunaku lwe yatuggibwako, omu ku abo abeere omujulirwa w’okuzuukira kwe awamu naffe. 23Ne balonda babiri, Yusufu ayitibwa Balusaba, n’atuumibwa nate erinnya Yusito, ne Matiya. 241:24 Yok 2:24,25; 6:70Ne basaba, ne bagamba nti Ggwe, Mukama waffe, amanyi emitima gy’abantu bonna, lagako omu gw’olonze ku bano bombi, 25aweebwe ekifo ky’okuweereza okwo n’obutume, Yuda bwe yasubwa agende mu kifo kye ye. 261:26 Nge 16:33Ne babakubira obululu; akalulu ne kagwa ku Matiya; n’abalirwa wamu n’abatume ekkumi n’omu.