Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

4
14:1 Bik 10:42, 1 Peet 4:5, Bar 14:9,10Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira omusango abalamu n’abafu, era n’olw’okulabika kwe n’obwakabaka bwe; 24:2 Bik 20:20,31buuliranga ekigambo; kubiririzanga mu bbanga erisaaniramu n’eritasaaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n’okugumiikiriza kwonna n’okuyigiriza. 34:3 2 Tim 1:13, 1 Tim 4:1Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa balikuŋŋaanya abayigiriza ng’okwegomba kwabwe bo bwe kuli; 44:4 1 Tim 4:7, 2 Bas 2:11baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo. 54:5 2 Tim 2:3, Bef 4:11Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo. 64:6 Baf 2:17Kubanga nze kaakano nfukibwa, n’ebiro eby’okuteebwa kwange bituuse. 7Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye: 84:8 2 Tim 2:5, Yak 1:12, 1 Peet 5:4, Kub 2:10ekisigaddeyo, enterekeddwa engule ey’obutuukirivu, Mukama waffe gy’alimpeera ku lunaku luli, asala emisango egy’ensonga: so si nze nzekka, naye era ne bonna abaagala okulabika kwe.
94:9 2 Tim 1:4Fuba okujja gye ndi mangu: 104:10 Bak 4:14kubanga Dema yandekawo, ng’ayagala emirembe egya kaakano, n’agenda e Ssessaloniika; Kulesuke e Ggalatiya, Tito e Dalumatiya. 114:11 Bik 15:37, Bak 4:10Lukka ye ali awamu nange yekka. Twala Makko, omuleete wamu naawe; kubanga angasa olw’okuweereza. 124:12 Bik 20:4, Bef 6:21, Bak 4:7Naye Tukiko nnamutuma mu Efeso. 13Ekyambalo kye nnaleka mu Tulowa ewa Kappo, bw’oliba ng’ojja, kireete, n’ebitabo, naye, okusinga, biri eby’amaliba. 144:14 1 Tim 1:20, 2 Sam 3:39, Zab 28:4; 62:12, Nge 24:12Alegezanda omuweesi w’ebikomo yankola obubi bungi: Mukama waffe alimusasula ng’ebikolwa bye bwe byali: 15oyo naawe omwekuumanga; kubanga yaziyiza nnyo ebigambo byaffe. 164:16 2 Tim 1:15Mu kuwoza kwange okw’olubereberye siwali eyannyamba, naye bonna banjabulira: nsaba baleme okukibalirwa. 174:17 Zab 22:21, Dan 6:21-28, Bik 23:11; 27:23Naye Mukama waffe yayimirira kumpi nange, n’ampa amaanyi; nze ndyoke ntuukirize kye mbuulira, era ab’amawanga bonna balyoke bawulire: ne ndokoka mu kamwa k’empologoma. 18Mukama waffe anandokolanga mu buli kikolwa ekibi, era anankuumanga okutuusa ku bwakabaka bwe obw’omu ggulu: aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe Amiina.
194:19 Bik 18:2, 2 Tim 1:16Lamusa Pulisika ne Akula, n’ennyumba ya Onesifolo. 204:20 Bik 19:22; 20:4; 21:29Erasuto yabeera mu Kkolinso: naye Tulofiimo nnamuleka mu Mireeto ng’alwadde. 21Fuba okujja ebiro by’empewo nga tebinnatuuka. Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n’ab’oluganda bonna.
22Mukama waffe abeerenga n’omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe.