Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

3
13:1 1 Tim 4:1Naye tegeera kino nga mu nnaku ez’oluvannyuma ebiro eby’okulaba ennaku birijja. 23:2 Bar 1:29Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab’amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali batukuvu, 3abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, 43:4 Bag 3:19ab’enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda; 53:5 Mat 7:15,21, Bar 2:20, Tit 1:16nga balina ekifaananyi ky’okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo: era nabo obakubanga amabega. 63:6 Mat 23:14, Tit 1:11Kubanga ku abo be bantu abasensera mu nnyumba ne banyaga abakazi abasirusiru abazitoowererwa ebibi ebingi, abafugibwa okwegomba okutali kumu, 73:7 2 Tim 2:25abayiga bulijjo, ne batayinza ennaku zonna okutuuka ku kutegeerera ddala amazima. 83:8 Kuv 7:11,22, 1 Tim 6:5; 1:12Era nga Yane ne Yambere bwe baaziyiza Musa, ne bano bwe batyo baziyiza amazima; abayonooneka amagezi gaabwe, abatasiimibwa mu kukkiriza. 9Naye tebalyeyongerako kuyitirira: kubanga obusirusiru bwabwe bulitegeererwa ddala abantu bonna, era ng’obwa bali bwe bwali. 10Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, empisa zange, okuteesa kwange, okukkiriza kwange, okugumiikiriza kwange, okwagala kwange, okulindirira kwange, 113:11 Bik 13:50; 14:5,19, Zab 34:19okuyigganyizibwa kwange, okubonaabona kwange; ebyambeerako mu Antiyokiya, mu Ikoniyo, mu Lusitula; okuyigganyizibwa kwe nnayigganyizibwanga bwe kwali: era Mukama waffe yandokola mu byonna. 123:12 Mat 16:24, Bik 14:22Naye era bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez’okutya Katonda banaayigganyizibwanga. 133:13 1 Tim 4:1Naye abantu ababi n’abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu bubi, nga balimba era nga balimbibwa. 143:14 2 Tim 2:2Naye ggwe beeranga mu ebyo bye wayiga n’otegeerera ddala, ng’omanyi abakuyigiriza bwe bali; 153:15 Yok 5:39, Zab 119:99era ng’okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza okuyingira mu bulokovu olw’okukkiriza okuli mu Kristo Yesu. 163:16 2 Peet 1:19-21, Bar 15:4Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulira okuli mu butuukirivu: 173:17 1 Tim 6:11omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.