Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

2
1Kale ggwe, mwana wange, beeranga wa maanyi mu kisa ekiri mu Kristo Yesu. 2Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulirwa abangi, ebyo biteresenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okuyigiriza n’abalala. 32:3 2 Tim 1:8; 4:5Bonaboneranga wamu nange ng’omulwanyi omulungi owa Kristo Yesu. 4Siwali mulwanyi bw’atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy’obulamu buno, alyoke asiimibwe eyamuwandiika okuba omulwanyi. 52:5 2 Tim 4:8Naye era omuntu bw’awakana, taweebwa ngule bw’atawakana nga bwe kiragirwa. 62:6 1 Kol 9:7,10Omulimi akola emirimu kimugwanira okusooka okutwala ku bibala. 7Lowooza kye njogedde; kubanga Mukama waffe anaakuwanga okutegeera mu bigambo byonna. 82:8 Bar 1:3; 2:16, 1 Kol 15:4,20, 2 Sam 7:12Jjukira Yesu Kristo, nga yazuukira mu bafu, ow’omu zzadde lya Dawudi, ng’enjiri yange bw’eyogera: 92:9 Bef 3:1,13, Baf 1:12; 2:17gye mbonaboneramu okutuusa ku kusibibwa, ng’akola obubi; naye ekigambo kya Katonda tekisibibwa. 102:10 Bak 1:24Kyenva ngumiikiriza byonna olw’abalonde, era nabo balyoke bafune obulokovu obuli mu Kristo Yesu, wamu n’ekitiibwa ekitaggwaawo. 112:11 2 Kol 4:11Ekigambo kino kyesigwa nti Kuba oba nga twafa naye, era tulibeera balamu naye: 122:12 Mat 10:33oba nga tugumiikiriza, era tulifuga naye: oba nga tulimwegaana, era naye alitwegaana ffe: 132:13 Bar 3:2,3, Kubal 23:19oba nga tetukkiriza, ye abeera mwesigwa: kubanga tayinza kwerimba.
142:14 1 Tim 6:4, Tit 3:9Ebyo obibajjukizanga, ng’obakuutirira mu maaso ga Mukama waffe, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira. 152:15 1 Tim 4:6, Luk 12:42, Tit 2:7,8Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayisa wakati ekigambo eky’amazima. 162:16 1 Tim 4:7Naye ebigambo ebitaliimu ebitali bya ddiini obyewalanga: kubanga baliyitirira mu butatya Katonda, 172:17 1 Tim 1:20n’ekigambo kyabwe kirirya nga kookolo: ku abo ye Kumenayo ne Fireeto; 18kubanga baakyama mu mazima, nga boogera ng’okuzuukira kwamala okubeerawo, era waliwo abantu be baavuunikirira okukkiriza kwabwe. 192:19 Kubal 16:5,26, Yok 10:14, Is 26:13; 28:16,17Naye omusingi gwa Katonda omugumu gubeerawo, nga gulina akabonero kano nti Mukama waffe amanyi ababe: era nti yeewalenga obutali butuukirivu buli ayatula erinnya lya Mukama waffe. 202:20 1 Kol 3:12Naye mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye era n’eby’emiti n’eby’ebbumba; n’ebirala eby’ekitiibwa, n’ebirala ebitali bya kitiibwa. 212:21 2 Tim 3:17Kale omuntu bwe yeerongoosaako ebyo, anaabeeranga ekintu eky’ekitiibwa, ekyatukuzibwa, ekisaanira omwami okuweerezanga, ekyalongooserezebwa buli mulimu omulungi. 222:22 1 Tim 6:11; 1:5Naye okwegomba okw’omu buvubuka okwewalanga, naye ogobereranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe, awamu n’abo abamusaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofu. 232:23 1 Tim 4:7Naye empaka ez’obusirusiru era ez’obutayigirizibwa ozirekanga, ng’omanyi nga zizaala okulwana. 242:24 Tit 1:7Naye omuddu wa Mukama waffe tekimugwanira kulwananga, wabula okubeeranga omukkakkamu eri bonna, omuyigiriza, omugumiikiriza, 252:25 1 Tim 2:4abuulirira n’obuwombeefu abawakanyi, mpozzi oba nga Katonda alibawa okwenenya olw’okutegeerera ddala amazima, 26era balitamiirukuka okuva mu mutego gwa Setaani, oyo ng’amaze okubakwasa okukolanga okwagala kw’oli.