Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

3
13:1 Bak 4:3, 1 Bas 5:25Ebisigaddeyo, ab’oluganda, mutusabirenga ekigambo kya Mukama waffe kiwulukuke, kiweebwenga ekitiibwa, era nga mu mmwe; 2era tulokoke eri abantu abatalina magezi, ababi; kubanga okukkiriza si kwa bonna. 33:3 1 Bas 5:24Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza, anaabakuumanga eri omubi. 43:4 1 Bas 4:10, Bag 5:10, 2 Kol 7:16Era twesiga Mukama waffe mu bigambo byammwe, nga mukola bye tulagira era munaabikolanga. 5Era Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe okutuuka mu kwagala kwa Katonda ne mu kugumiikiriza kwa Kristo.
63:6 Mat 18:17, Bar 16:17, 1 Bas 5:14; 4:1Era tubalagira, ab’oluganda, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mweyawulenga eri buli ow’oluganda atatambula bulungi, newakubadde mu mpisa ze baaweebwa ffe. 73:7 Baf 3:17, 1 Bas 2:1; 1:6Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bwe kibagwanira okutugobereranga: kubanga tetwalema kutambula bulungi mu mmwe; 83:8 1 Kol 4:12, 1 Bas 2:9so tetulyanga mmere ya muntu yenna ya bwereere, naye mu kufuba n’okukoowa twakolanga emirimu ekiro n’emisana obutazitoowerera muntu ku mmwe: 93:9 Mat 10:10, 1 Kol 4:16, 1 Bas 1:6,7si kubanga tetulina buyinza, naye tweweeyo gye muli ng’ekyokulabirako mulyoke mutugobererenga. 103:10 Lub 3:19, 1 Bas 3:4; 4:11Kubanga era bwe twali gye muli, twabalagira bwe tutyo nti Omuntu yenna bw’agaananga okukola emirimu, n’okulya talyanga. 113:11 1 Bas 5:14Kubanga tuwulira nti eriyo abamu abatatambula bulungi mu mmwe nga tebakola mirimu gyabwe n’akatono, wabula egy’abalala. 123:12 1 Bas 4:11Abali bwe batyo tubalagira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu Kristo, okukolanga emirimu n’obuteefu balyoke balyenga emmere yaabwe bo. 133:13 Bag 6:9Naye mmwe, ab’oluganda, temukoowanga mu kukola obulungi. 143:14 1 Kol 5:9,11Era omuntu yenna bw’atagonderanga kigambo kyaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegerezanga, so temwegattanga naye, ensonyi ziryoke zimukwate. 153:15 1 Bas 5:13,14So temumulowoozanga nga mulabe, naye mumubuuliriranga ng’ow’oluganda.
163:16 1 Bas 5:23Era Mukama waffe ow’emirembe yennyini abawenga emirembe ennaku zonna mu bigambo byonna. Mukama waffe abeerenga nammwe mwenna.
173:17 1 Kol 16:21Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n’omukono gwange, ke kabonero mu bbaluwa yonna: bwe ntyo bwe mpandiika. 18Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna.