Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

1
11:1 1 Bas 1:1Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey’Abasessaloniika mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo; 21:2 Bar 1:7ekisa kibeerenga gye muli n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
31:3 1 Bas 1:2,3, 2 Bas 2:13Kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab’oluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, n’okwagalana kwa buli muntu ku mmwe mwenna mwekka na mwekka kweyongera; 41:4 2 Kol 7:4, Kub 1:9, 1 Bas 2:19; 3:2,7naffe bennyini n’okwenyumiriza ne twenyumiririzanga mu mmwe mu kkanisa za Katonda olw’okugumiikiriza kwammwe n’okukkiriza mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna n’okubonaabona kwe muzibiikiriza; 51:5 1 Bas 2:12, Baf 1:28, Luk 20:35ebyo ke kabonero k’omusango gwa Katonda ogw’ensonga; mulyoke musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda, n’okubonaabona bwe mubonaabonera: 61:6 Kub 18:6,7, Bar 12:19oba nga kya nsonga eri Katonda okubasasula okubonaabona abababonyaabonya, 71:7 Mat 25:31, 1 Bas 3:13; 4:16era nammwe ababonyaabonyezebwa okubasasula okwesiima awamu naffe, mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika ab’obuyinza bwe, 81:8 Bar 2:8, Is 66:15, Yer 10:25, Zab 79:6, 1 Peet 4:17mu muliro ogwaka, ng’awalana eggwanga abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu: 91:9 Is 2:10,19,21abalibonerezebwa, kwe kuzikirira emirembe n’emirembe okuva mu maaso ga Mukama waffe ne mu kitiibwa ky’amaanyi ge, 101:10 1 Bas 3:13, Bak 3:4, Zab 89:7; 69:36, Is 49:3; 2:11,17bw’alijja okuweebwa ekitiibwa mu batukuvu be, n’okwewuunyizibwa mu bonna abakkiriza (kubanga okutegeeza kwaffe gye muli kwakkirizibwa) ku lunaku luli. 111:11 1 Bas 1:2,3Kyetuva tubasabira ennaku zonna, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe, era atuukirize n’amaanyi buli kye mwagala eky’obulungi na buli mulimu ogw’okukkiriza; 121:12 Is 24:15; 66:5, Mal 1:11erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke liweebwe ekitiibwa mu mmwe, era nammwe mu ye ng’ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.