Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

3
13:1 2 Peet 1:13Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa ey’okubiri gye mbawandiikira; mu ezo zombi mbakubiriza amagezi gammwe agataliimu bukuusa nga mbajjukiza; 23:2 Yud 17okujjukiranga ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu, n’ekiragiro ky’abatume bammwe ekya Mukama waffe era Omulokozi: 33:3 1 Tim 4:1, Yud 18nga mumaze okusooka okutegeera kino, nga mu nnaku ez’oluvannyuma abasekerezi balijja n’okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo 43:4 Is 5:19, Ez 12:22, Mat 24:48ne boogera nti Okusuubiza kw’okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa. 53:5 Mat 24:38, Zab 24:2, Lub 1:2,6,9Kubanga beerabira kino nga balaba, ng’edda waaliwo eggulu, n’ensi eyava mu mazzi era yali wakati mu mazzi, olw’ekigambo kya Katonda, 63:6 2 Peet 2:5, Lub 7:21ensi ey’edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n’ezikirira: 7naye eggulu erya kaakano n’ensi olw’ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw’omusango n’okuzikirira kw’abantu abatatya Katonda.
83:8 Zab 90:4Naye kino kimu temukyerabiranga, abaagalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng’emyaka olukumi, n’emyaka olukumi giri ng’olunaku olumu. 93:9 Kaab 2:3, 1 Tim 2:4Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng’abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya. 103:10 1 Bas 5:2,3, Kub 20:11, Mat 24:29,35Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n’okuwuuma okunene n’ebintu eby’obuwangwa birisaanuuka olw’okwokebwa okungi, n’ensi n’ebikolwa ebigirimu birisirikka. 11Ebyo byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n’okutyanga Katonda, 123:12 Is 34:4, Yud 5nga musuubira nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisa eggulu nga lyokebwa, n’ebintu eby’obuwangwa ne biseebengerera olw’ebbugumu eringi? 133:13 Is 65:17; 66:22, Kub 21:1,27Naye nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.
143:14 1 Kol 1:7,8, Yud 24Kale, abaagalwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga temulina bbala newakubadde omusango mu maaso ge. 153:15 Bar 2:4, 1 Kol 3:10Era mulowoozenga ng’okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi, era nga muganda waffe omwagalwa Pawulo mu magezi ge yaweebwa bwe yabawandiikira; 16era nga mu bbaluwa ze zonna, ng’ayogera ku ebyo mu zo; omuli ebimu ebizibu okutegeera, abatamanyi n’abatali banywevu bye banyoola, era nga n’ebyawandiikibwa ebirala, olw’okuzikirira kwabwe bo. 173:17 Mak 13:5,9,33Kale, abaagalwa, kubanga musoose okutegeera, mwekuumanga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw’ababi. 183:18 Yud 25Naye mukulire mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano era n’okutuusa ku lunaku olw’emirembe n’emirembe. Amiina.