Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

2
12:1 Mat 24:11, 1 Tim 4:11, Mat 13:1, Yud 5Naye era ne wabaawo ne bannabbi b’obulimba mu ggwanga, era nga ne mu mmwe bwe waliba abayigiriza b’obulimba, abaliyingiza mu nkiso obukyamu obuzikiriza, era nga beegaana ne Mukama waabwe eyabagula, nga beereetera okuzikirira okwangu. 22:2 Is 52:5Era bangi abaligoberera obukaba bwabwe; abalivumisa ekkubo ery’amazima. 32:3 Bar 16:18, 2 Kol 9:5, 1 Bas 2:5Era olw’okwegomba balibaviisaamu amagoba n’ebigambo ebyagunjibwa: omusango gw’abo okuva edda tegulwa, n’okuzikirira kwabwe tekubongoota. 42:4 Lub 6:1, Yud 6Kuba oba nga Katonda teyasonyiwa bamalayika bwe baayonoona, naye n’abasuula mu lukonko n’abawaayo eri obunnya obw’ekizikiza, okubakuumira omusango; 52:5 2 Peet 3:6, Lub 8:18era n’atasonyiwa nsi ey’edda, naye n’awonya Nuuwa, omubuulizi w’obutuukirivu, ne banne omusanvu bokka, bwe yaleeta amataba ku nsi ey’abatatya Katonda: 62:6 Lub 19:24, Yud 7era bwe yasirissa ebibuga Sodomu ne Ggomola n’abisalira omusango ng’abizikiriza ng’abifuula ekyokulabirako eri abo abatalitya Katonda; 7era n’alokola Lutti omutuukirivu, bwe yali nga yeeraliikirira nnyo olw’empisa ez’obukaba ez’ababi 82:8 Ez 9:4(kubanga omuntu oyo omutuukirivu, bwe yatuulanga mu bo, olw’okulaba n’olw’okuwulira yanyolwanga mu mwoyo gwe omutuukirivu bulijjo bulijjo olw’ebikolwa byabwe eby’obujeemu): 92:9 1 Kol 10:13, Kub 3:10, Yud 6Mukama waffe amanyi okulokola abatya Katonda mu kukemebwa, n’okukuuma abatali batuukirivu nga babonerezebwa okutuusa ku lunaku olw’omusango; 102:10 Yud 7,8,16naye okusinga bonna abatambula okugoberera omubiri mu kwegomba okw’obugwagwa ne banyooma okufugibwa. Abatatya, abakakanyavu, tebakankana kuvuma ba kitiibwa: 112:11 Yud 9naye bamalayika, newakubadde nga be basinga amaanyi n’obuyinza, tebabaleetako musango gwa buvumi eri Mukama waffe. 122:12 Yud 10Naye abo, ng’ensolo ezitalina magezi ezizaalibwa ensolo obusolo ez’okukwatibwanga n’okuzikirizibwanga, abavuma mu bigambo bye batategeera, mu kuzikirira kwabwe tebalirema kuzikirizibwa, 132:13 Yud 12nga boonoonebwa, ye mpeera ey’okwonoona; abalowooza ebinyumu by’emisana nga ssanyu, mabala n’obwonoonefu, abatiguka mu mbaga zaabwe ez’okwagalana nga balya embaga awamu nammwe: 14nga balina amaaso agajjudde obwenzi, agataleka kwonoona; nga basendasenda emyoyo egitali minywevu; nga balina omutima ogwamanyiira okwegomba; abaana ab’okukolimirwa; 152:15 Kubal 22:7, Kub 2:14, Yud 11abaleka ekkubo eggolokofu ne bakyama, nga bagoberera ekkubo lya Balamu omwana wa Beyoli, eyayagala empeera ey’obutali butuukirivu; 162:16 Kubal 22:28naye n’anenyezebwa olw’obujeemu bwe ye: endogoyi eteyogera bwe yayogera n’eddoboozi ly’omuntu yaziyiza eddalu lya nnabbi. 172:17 Yud 12,13Abo ze nzizi ezitaliimu mazzi, era lwe lufu olutwalibwa n’embuyaga, abakuumirwa ekizikiza ekikutte zigizigi. 182:18 Yud 16Kubanga, bwe boogera ebigambo ebikulu ennyo ebitaliimu, basendasenda mu kwegomba kw’omubiri, mu bukaba, abo abali okumpi n’okubadduka abatambulira mu bukyamu; 192:19 Yok 8:34, Bar 6:16nga babasuubiza okuweebwa eddembe, nga bo bennyini baddu ba kuzikirira; kubanga omuntu bw’awangulibwa munne, era abeera muddu we. 20Kuba oba nga bwe bamala okudduka okuva mu bugwagwa bw’ensi mu kutegeerera ddala Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, naye ne beegombeza mu obwo omulundi ogw’okubiri ne bawangulibwa eby’oluvannyuma byabwe bisinga obubi eby’olubereberye. 212:21 Luk 12:47,48, Yud 3Kubanga kyandibadde kirungi gye bali singa tebaategeera kkubo lya butuukirivu, okusinga, bwe bamala okulitegeera, okudda ennyuma okuleka ekiragiro ekitukuvu kye baaweebwa. 222:22 Nge 26:11Kyabatuukirira ng’olugero olw’amazima bwe luli, nti Embwa eddidde ebisesemye byayo, n’embizzi enaazibbwa eddidde okwekulukuunya mu bitosi.