Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

1
11:1 1 Peet 5:1, 3 Yok 1Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde n’abaana be nze be njagala mu mazima; so si nze nzekka, era naye ne bonna abategeera amazima; 2olw’amazima agabeera mu ffe, era aganaabeeranga naffe emirembe n’emirembe: 3ekisa, okusaasira, emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe, binaabeeranga naffe mu mazima n’okwagala.
4Nsanyuse nnyo kubanga nnaasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima, nga bwe twaweebwa Kitaffe ekiragiro. 51:5 1 Yok 2:7Era kaakano nkwegayirira, omukyala, si ng’akuwandiikira ekiragiro ekiggya wabula kye twalina okuva ku lubereberye, twagalanenga fekka na fekka. 6Na kuno kwe kwagala okutambuliranga mu biragiro bye. Ekyo kye kiragiro, nga bwe mwawulira okuva ku lubereberye mulyoke mukitambulirengamu. 71:7 1 Yok 2:18; 4:1-3Kubanga abalimbalimba bangi abafuluma mu nsi, abatayatula Yesu Kristo ng’ajja mu mubiri. Oyo ye mulimbalimba oli era omulabe oli owa Kristo. 81:8 Bag 4:11Mwekuumenga muleme okubulwa emirimu gye twakola, naye muweebwe empeera ennamba. 91:9 1 Yok 2:23Buli muntu ayitirira n’atabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda: abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina Kitaffe era n’Omwana. 101:10 2 Bas 3:6, 1 Bassek 13:17, 3 Yok 8Omuntu yenna bw’ajjanga gye muli n’ataleeta kuyigiriza okwo temumusembezanga mu nnyumba, so temumulamusanga: 11kubanga amulamusa assa ekimu naye mu bikolwa bye ebibi.
121:12 3 Yok 13Newakubadde nga nnina ebigambo bingi okubawandiikira, ssaagala kubiwandiika ku lupapula ne bwino: naye nsuubira okujja gye muli, n’okwogera akamwa n’akamwa, essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 13Abaana ba muganda wo omulonde bakulamusizza.