Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

6
1Era bwe tukolera emirimu awamu naye tubeegayirira obutaweerwa bwereere kisa kya Katonda 26:2 Is 49:8, Luk 4:19,21(kubanga ayogera nti
Mu biro eby’okukkirizibwamu nnakuwulira,
Ne ku lunaku olw’obulokozi nnakuyamba:
laba, kaakano bye biro eby’okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw’obulokozi): 3nga tetuleeta nkonge yonna mu kigambo kyonna, okuweereza kwaffe kulemenga okunenyezebwa; 46:4 2 Kol 4:2naye mu byonna nga twetendereza ng’abaweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi, mu bibonoobono, mu kwetaaga, mu nnaku, 56:5 2 Kol 11:23-27mu kukubibwa, mu kusibibwa, mu kukaayana, mu kufuba, mu kutunula, mu kusiiba; 66:6 1 Tim 4:12mu bulongoofu, mu kutegeera, mu kugumiikiriza, mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, mu kwagala okutaliimu bunnanfuusi, 76:7 1 Kol 2:4mu kigambo eky’amazima, mu maanyi ga Katonda; olw’ebyokulwanyisa eby’obutuukirivu mu mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono, 8olw’ekitiibwa n’olw’okunyoomebwa, olw’okuvumibwa n’olw’okusiimibwa; ng’abalimba, era naye ab’amazima; 96:9 2 Kol 4:10, Zab 118:18ng’abatategeerebwa, era naye abategeerebwa ennyo; ng’abafa, era, laba, tuli balamu; ng’ababonerezebwa, era ne tutattibwa; 106:10 Baf 4:12,13ng’abanakuwala, naye abasanyuka bulijjo; ng’abaavu, naye abagaggawaza abangi; ng’abatalina kintu, era naye abalina ddala byonna.
116:11 Zab 119:32Akamwa kaffe kaasamiddwa eri mmwe, Abakkolinso, omutima gwaffe gugaziye. 12Temufunze mu ffe, naye mufunze mu myoyo gyammwe. 136:13 1 Kol 4:14Naye mulyoke munsasule bwe mutyo (mbabuulira ng’abaana bange), nammwe mugaziwe.
146:14 Bef 5:11Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n’obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n’ekizikiza? 15Era Kristo atabagana atya ne Beriyali? oba mugabo ki eri omukkiriza n’atali mukkiriza? 166:16 1 Kol 3:16, Leev 26:12, Ez 37:27Era yeekaalu ya Katonda yeegatta etya n’ebifaananyi? kubanga ffe tuli yeekaalu ya Katonda omulamu; nga Katonda bwe yayogera nti Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.
176:17 Yer 51:45, Ez 20:34,41, Is 52:11, Kub 18:4Kale
Muve wakati w’abo, mweyawule, bw’ayogera Mukama,
So temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu;
Nange ndibasembeza,
186:18 2 Sam 7:8, Is 43:6, Yer 31:9; 32:38, Kos 1:10, Am 4:13Era nnaabeeranga Kitammwe gye muli,
Nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala,
bw’ayogera Mukama Omuyinza w’ebintu byonna.