Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

5
15:1 Yob 4:19, 2 Peet 1:13,14Kubanga tumanyi nti, oba ng’ennyumba yaffe ey’ensiisira ey’omu nsi eryabizibwa, tulina eyazimbibwa eva eri Katonda, ennyumba etaazimbibwa na mikono, ey’emirembe n’emirembe, ey’omu ggulu. 25:2 Bar 8:23Kubanga tusindira mu eno, nga twegomba okwambazibwa ennyumba yaffe eriva mu ggulu: 3bwe tulyambazibwa, mpozzi tuleme okusangibwa nga tuli bwereere. 45:4 1 Kol 15:53Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa; si kubanga twagala okwambula, wabula okwambazibwa, ogwo ogufa gulyoke gumirwe obulamu. 55:5 2 Kol 1:22, Bef 1:13, Bar 8:16,23Naye eyatukolera ekyo ye Katonda, eyatuwa omusingo ogw’Omwoyo. 65:6 Beb 11:13Kyetuva tuguma omwoyo ennaku zonna, era tumanya nga bwe tuba mu mubiri tuba wala Mukama waffe 75:7 1 Kol 13:12(kubanga tutambula olw’okukkiriza, si lwa kulaba); 85:8 Baf 1:23tuguma omwoyo, era kino kye tusinga okwagala, okuba ewala omubiri n’okubeera Mukama waffe gy’ali. 95:9 Zab 39:12Era kyetuva tufuba, oba nga tukyali muno, oba nga tuli wala, okusiimibwa ye. 105:10 Bik 17:31, Bar 2:16; 14:10Kubanga ffe fenna kitugwanira okulabisibwa Kristo w’alisalira emisango; buli muntu aweebwe bye yakola mu mubiri, nga bwe yakola, oba birungi oba bibi.
115:11 2 Kol 4:2Kale, bwe tumanya entiisa ya Mukama waffe, tusendasenda abantu, naye tulabisibwa eri Katonda: era nsuubira nga tulabisibwa ne mu myoyo gyammwe. 125:12 2 Kol 3:1Tetwetendereza nate eri mmwe, wabula okubawa mmwe kye munaasinziirangako okwenyumirizanga ku lwaffe, mulyoke mubenga n’eky’okubaddamu abeenyumiriza mu maaso, so si mu mutima. 13Kuba oba nga tulaluse, tulaluse eri Katonda; oba nga twegendereza, twegendereza eri mmwe. 14Kubanga okwagala kwa Kristo kutuwaliriza, nga tulowooza bwe tuti ng’omu yabafiirira bonna, bonna kyebaava bafa; 155:15 1 Tim 2:6, Bar 14:7,8naye yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira n’azuukira. 16Okusooka leero kyetuva tulema okumanya omuntu yenna mu mubiri: okumanya newakubadde nga twamanya Kristo mu mubiri, naye kaakano tetukyamumanya nate bwe tutyo. 175:17 Bar 8:1,10, Bag 6:15, Kub 21:5, Is 43:18; 65:17Omuntu yenna bw’aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby’edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya. 185:18 Bar 5:10Naye byonna biva eri Katonda, eyatutabaganya naye yekka ku bwa Kristo, n’atuwa ffe okuweereza okw’okutabaganya; 195:19 Bak 3:24,25, Bak 1:19,20nti Katonda yali mu Kristo ng’atabaganya ensi naye yennyini, nga tababalira byonoono byabwe, era nga yatuteresa ffe ekigambo eky’okutabaganya.
205:20 Is 52:7Kyetuva tubeera ababaka mu kifo kya Kristo, Katonda ng’afaanana ng’abeegayirira mu ffe: tubeegayirira mu kifo kya Kristo mutabagane ne Katonda. 21Ataamanya kibi, yamufuula ekibi ku lwaffe; ffe tulyoke tufuuke obutuukirivu bwa Katonda mu ye.