Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

13
113:1 Ma 19:15, Mat 18:16, 1 Tim 5:19Kaakano njija gye muli omulundi ogw’okusatu. Mu kamwa k’abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kirinywera. 2Nnalaalika era ndaalika, nga bwe nnakola bwe nnali eyo omulundi ogw’okubiri, era ne kaakano bwe ntyo nga ssiriiyo, mbagamba abo abaayonoona edda n’abalala bonna, nti bwe ndijja nate, ssirisaasira; 3kubanga munoonya ekitegeeza nga Kristo ayogerera mu nze; atali munafu eri mmwe, naye alina amaanyi mu mmwe: 413:4 Baf 2:7,8kubanga yakomererwa olw’obunafu, naye mulamu olw’amaanyi ga Katonda. Kubanga naffe tuli banafu mu ye, naye tuliba balamu awamu naye olw’amaanyi ga Katonda eri mmwe. 513:5 1 Kol 11:28Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza; mwekeme mwekka. Oba temwetegeera mwekka nga Yesu Kristo ali mu mmwe? wabula nga muli abatasiimibwa. 6Naye nsuubira nga mulitegeera nga ffe tetuli batasiimibwa. 7Era tusaba Katonda mmwe mulemenga okukola obubi bwonna; si ffe okulabika ng’abasiimibwa, wabula mmwe okukolanga obulungi, ffe ne bwe tulibeera ng’abatasiimibwa. 813:8 1 Kol 13:6Kubanga tetuyinza kuziyiza mazima, wabula okugayamba. 9Kubanga tusanyuka ffe bwe tuba abanafu, nammwe bwe muba n’amaanyi: era na kino tukisaba, mmwe okutuukirira. 1013:10 2 Kol 2:3; 10:8,11Kyenvudde mpandiika ebyo nga ssiri eyo, bwe mbeera eyo nneme okuba omukambwe, ng’obuyinza bwe buli Mukama waffe bwe yampa olw’okuzimba, so si lwa kumenya.
1113:11 Baf 4:4, Bar 15:33Eky’enkomerero, ab’oluganda, mweraba. Mutuukirire; musanyusibwe; mulowooze bumu; mubeere n’emirembe: ne Katonda olw’okwagala n’emirembe anaabanga nammwe. 1213:12 1 Kol 16:20Mulamusagane n’okunywegera okutukuvu.
13Abatukuvu bonna babalamusizza.
14Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okwagala kwa Katonda, n’okusseekimu okw’Omwoyo Omutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.