Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

6
16:1 Bef 6:5, Tit 2:9,10Abali mu bufuge abaddu balowoozenga bakama baabwe bennyini nga basaanidde ekitiibwa kyonna, erinnya lya Katonda n’okuyigiriza kwaffe biremenga okuvumibwa. 26:2 Fir 1:16Era abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, kubanga ba luganda; naye beeyongere okubaweerezanga, kubanga abassa ekimu mu kukolwa obulungi bakkiriza era baagalwa. Yigirizanga ebyo obibuulirirenga.
36:3 Bag 1:6-9, 2 Tim 1:13Omuntu yenna bw’ayigirizanga obulala, so nga takkiriza bigambo bya bulamu, bye bya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okuyigiriza okugobereranga okutya Katonda; 4nga yeekulumbaza, nga taliiko ky’ategeera, wabula okukalambiza okukalambiza empaka n’entalo ez’ebigambo, omuva obuggya, okuyomba, okuvuma, okuteerera obubi, 56:5 2 Tim 3:8; 4:4, Tit 1:14okukaayana kw’abantu abayonooneka amagezi, abaggibwako amazima, nga balowooza ng’okutya Katonda kwe kufuna amagoba. 66:6 1 Tim 4:8, Beb 13:5, Baf 4:11,12Naye okutya Katonda wamu n’obutayaayaananga ge magoba amangi: 76:7 Mub 5:15, Yob 1:21kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, kubanga era tetuyinza kuggyamu kintu; 86:8 Nge 30:8naye bwe tuba n’emmere n’ebyokwambala, ebyo binaatumalanga. 96:9 Nge 23:4; 28:22Naye abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n’okwegomba okungi okw’obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n’okuzikirira. 106:10 Bef 5:5Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky’ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n’ennaku ennyingi.
116:11 2 Tim 2:22Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo, ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuwombeefu. 126:12 1 Kol 9:25,26, 2 Tim 4:7Lwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n’oyatula okwatula okulungi mu maaso g’abajulirwa abangi. 136:13 Yok 18:36,37; 19:11Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne Kristo Yesu eyategeeza okwatula okulungi eri Pontio Piraato; 14weekuumenga ekiragiro awatali bbala, awatali kya kunenyezebwa, okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo 156:15 1 Tim 1:11, Kub 17:14, Ma 10:17kw’aliraga mu ntuuko zaakwo Nannyini buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w’abaami; 166:16 Kuv 33:20alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw’atalabangako, so siwali ayinza okumulaba: aweebwenga ekitiibwa n’obuyinza obutaggwaawo. Amiina.
176:17 Zab 62:10, Luk 12:20, Bar 12:16Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw’obugagga tulyoke twesanyusenga n’ebyo; 18bakolenga obulungi, babeerenga abagagga mu bikolwa ebirungi, babeerenga bagabi, bassenga kimu; 196:19 Mat 6:20nga beeterekera eky’okuyimako ekirungi olw’ebiro ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu ddala ddala.
206:20 1 Tim 4:7, 2 Tim 1:14Ai Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa, nga weewala ebigambo ebitaliimu ebitali bya Katonda n’okulwana kw’ebigambo eby’okutegeera, okuyitibwa bwe kutyo mu bulimba; 216:21 1 Tim 1:6, 2 Tim 2:18waliwo abantu abeegamba okuba nakwo, ne bakyama mu kukkiriza.
Ekisa kibeerenga nammwe.