Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

5
15:1 Leev 19:32Tonenyanga mukadde, naye omubuuliriranga nga kitaawo; abavubuka ng’ab’oluganda: 2abakazi abakadde nga nnyoko; abato nga bannyoko mu bulongoofu bwonna. 3Obawenga ekitiibwa bannamwandu ababa bannamwandu ddala. 4Naye nnamwandu yenna bw’aba n’abaana oba bazzukulu, basookenga okuyiga okwegendereza eri ab’omu nnyumba zaabwe, n’okusasula bakadde baabwe: kubanga ekyo kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda. 55:5 Yer 49:11, Luk 2:37; 18:7Naye abeera nnamwandu ddala n’alekebwa yekka, asuubira Katonda, n’anyiikiranga okusaba n’okwegayiriranga emisana n’ekiro. 6Naye oyo awoomerwa ebinyumu ng’afudde newakubadde ng’akyali mulamu. 7Era n’ebyo obalagire, balemenga okubaako eky’okunenyezebwa. 8Naye omuntu yenna bw’atajjanjaba babe, n’okusinga ab’omu nnyumba ye, nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza. 9Nnamwandu yenna tawandiikibwanga nga tannatuusa myaka nkaaga, eyafumbirwa omusajja omu, 105:10 Beb 13:2, Yok 13:14asiimibwa mu bikolwa ebirungi; oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yabeeranga ababonaabona, oba nga yagobereranga nnyo buli kikolwa ekirungi. 11Naye bannamwandu abakyali abato obagaanenga: kubanga bwe balikabawala eri Kristo, nga baagala okufumbirwa; 12nga bazza omusango kubanga basuula okukkiriza kwabwe okw’olubereberye. 135:13 2 Bas 3:11Era ate bayiga okubeeranga abagayaavu, nga baatambulatambula okubuna amayumba; naye tebagayaala bugayaazi, era naye balina olugambo n’akajanja, nga boogera ebitasaana. 145:14 1 Kol 7:9Kyenva njagala abakyali abato bafumbirwenga, bazaalenga abaana, bafugenga ennyumba, balemenga okuwa omulabe ebbanga w’ayima okuvuma: 15kubanga waliwo kaakano abaakyuka okugoberera Setaani 16Omukazi yenna akkiriza bw’abanga ne bannamwandu, abayambenga, era ekkanisa eremenga okuzitoowererwa, eryoke eyambenga bannamwandu ddala ddala.
175:17 Bar 12:8, Baf 2:29Abakadde abafuga obulungi basaanyizibwe okuweebwanga ekitiibwa emirundi ebiri, okusinga abafuba mu kigambo n’okuyigiriza. 185:18 Ma 25:4; 24:15, 1 Kol 9:9, Luk 10:7Kubanga ekyawandiikibwa kyogera nti tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano. Era nti akola emirimu asaanira empeera ye. 195:19 Ma 19:15, Mat 18:16, 2 Kol 13:1Tokkirizanga kiroope ku mukadde awatali bajulirwa babiri oba basatu. 205:20 Bag 2:14Aboonoona obanenyezanga mu maaso g’abantu bonna, era n’abalala balyoke batyenga. 215:21 Luk 9:26Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde, weekuumenga ebyo awatali kusaliriza, nga tokola kigambo olw’obuganzi. 225:22 1 Tim 4:14Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by’abantu abalala: weekuume obeerenga mulongoofu. 23Tonywanga mazzi gokka, naye onywanga ne ku mwenge katono olw’olubuto lwo n’olw’okulwalalwala. 24Waliwo abantu ebibi byabwe biba mu lwatu; nga bibakulembera okugenda mu musango; era n’abalala bibavaako nnyumba. 25Era bwe kityo n’ebikolwa ebirungi biba mu lwatu; ne bwe kitaba bwe kityo tebirirema kwolesebwa.