Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

4
14:1 2 Tim 3:1, 2 Peet 3:3, Yud 1:18, 1 Yok 2:18Naye Omwoyo ayogera lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n’okuyigiriza kwa basetaani, 2olw’obunnanfuusi bw’abalimba, nga bookebwa emyoyo gyabwe nga n’ekyuma ekyokya, 34:3 Lub 9:3, 1 Kol 10:30,31nga bawera okufumbiriganwanga era nga balagira okulekanga ebiriibwa, Katonda bye yatonda biriirwenga mu kwebaza abakkiriza ne bategeerera ddala amazima. 44:4 Lub 1:31, Bik 10:15Kubanga buli kitonde kya Katonda kirungi, so siwali kya kusuula bwe kitoolebwa n’okwebaza: 5kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda n’okusaba.
6Bw’onojjukizanga ab’oluganda ebyo, onoobanga muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng’okulira mu bigambo eby’okukkiriza n’eby’okuyigiriza okulungi kwe wagoberera: 74:7 1 Tim 1:4; 6:20, Tit 1:14; 3:9naye enfumo ezitali za ddiini ez’obusirusiru z’oba olekanga. Weemanyiizenga okutya Katonda: 84:8 1 Tim 6:6kubanga okwemanyiiza kw’omubiri kugasa akaseera katono; naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kulina okusuubiza kw’obulamu obwa kaakano n’obw’obugenda okujja. 94:9 1 Tim 1:15Ekigambo ekyo kyesigwa era ekisaanira okukkirizibwa kwonna. 104:10 1 Tim 2:3,4Kubanga kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga twasuubira Katonda omulamu, Omulokozi w’abantu bonna, okusinga w’abakkiriza. 11Lagiranga ebyo obiyigirizenga. 124:12 Tit 2:15Omuntu yenna takunyoomanga lwa buvubuka bwo; naye beeranga kyakulabirako eri abo abakkiriza mu kwogeranga, mu kutambulanga, mu kwagalanga, mu kukkirizanga, mu kubanga omulongoofu. 13Okutuusa lwe ndijja, nyiikiranga mu kusoma, n’okubuuliriranga, n’okuyigirizanga. 144:14 1 Tim 5:22, 2 Tim 1:6, Bik 6:6; 8:17Tolekanga kirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa olw’obunnabbi awamu n’okuteekebwako emikono gy’abakadde. 15Ebyo obirowoozenga, obeerenga mu ebyo; okuyitirira kwo kulabikenga eri bonna. 164:16 Bar 11:14Weekuumenga wekka n’okuyigiriza kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw’okola bw’otyo, olyerokola wekka era n’abo abakuwulira.