Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

3
13:1 Bik 20:28Kyesigwa ekigambo ekyo nti Omuntu bw’ayagalanga obulabirizi, yeegomba mulimu mulungi. 23:2 Tit 1:6,7Kale omulabirizi kimugwanira obutabangako kya kunenyezebwa, abeerenga musajja wa mukazi omu, atatamiira, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, ayigiriza; 3atayombera ku mwenge, atakuba; naye omuwombeefu, atalwana, ateegomba bintu; 43:4 1 Sam 2:12afuga obulungi ennyumba ye ye, agonza abaana be mu kitiibwa kyonna; 5(naye omuntu bw’atamanya kufuga nnyumba ye ye, ayinza atya okujjanjaba ekkanisa ya Katonda?) 6si oyo eyaakakyuka, alemenga okwekulumbaza n’amala agwa mu musango gwa Setaani. 73:7 1 Tim 5:10, 2 Kol 8:21, 1 Kol 5:12,13Era nate kimugwanira okubeeranga n’okutegeezebwa okulungi eri abo ab’ebweru, alemenga okugwa mu kuvumibwa ne mu kyambika kya Setaani. 83:8 Baf 1:1, Bik 6:3Bwe batyo n’abaweereza kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, si bannimibbirye, abatanywanga mwenge mungi, si beegombi ba bintu; 9nga bakuuma ekyama eky’okukkiriza mu mwoyo omulungi. 10Era nate abo basookenga okukemebwa, balyoke baweereze, nga tebaliiko kya kunenyezebwa. 113:11 Tit 2:3Bwe batyo n’abakazi kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, abatawaayiriza, abatatamiira, abeesigwa mu byonna. 12Abaweereza babeerenga basajja ba mukazi omu, nga bafuga abaana baabwe obulungi n’ennyumba zaabwe bo. 13Kubanga abamala okuweereza obulungi beefunira obukulu obulungi n’obugumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo Yesu.
14Nkuwandiikidde ebyo nga nsuubira okujja gy’oli mangu; 153:15 2 Tim 2:20, Bef 2:19-22naye bwe ndwanga olyoke obe ng’omanyi bwe kigwana okukolanga mu nnyumba ya Katonda, ye kkanisa ya Katonda omulamu, empagi n’omusingi eby’amazima. 163:16 Yok 1:14; 16:10Era awatali kubuusabuusa ekyama eky’okutya Katonda kye kikulu; oyo eyalabisibwa mu mubiri, n’aweebwa obutuukirivu mu mwoyo, n’alabibwa bamalayika, n’abuulirwa mu mawanga, n’akkirizibwa mu nsi, n’atwalibwa mu kitiibwa.