Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

2
12:1 Baf 4:6Kale okusooka byonna mbabuulirira okwegayiriranga n’okusabanga n’okutakabananga n’okwebazanga bikolebwenga ku lw’abantu bonna; 2ku lwa bakabaka n’abakulu bonna; tulyoke tubeerenga n’obulamu obutereevu obw’emirembe mu kutya Katonda kwonna ne mu kwegendereza. 32:3 1 Tim 1:1; 4:10Ekyo kye kirungi, ekikkirizibwa mu maaso g’Omulokozi waffe Katonda, 42:4 Ez 18:23, 2 Peet 3:9ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima. 52:5 Bar 3:29,30, Beb 12:24Kubanga waliwo Katonda omu, era omutabaganya wa Katonda n’abantu omu, omuntu Kristo Yesu, 62:6 Bag 1:4; 2:20, Tit 2:14eyeewaayo abe omutango olwa bonna; okutegeeza kulibaawo mu ntuuko zaakwo: 72:7 2 Tim 1:11, Bag 2:7,8nze kwe nnateekerwa omubuulizi era omutume (njogera mazima, ssirimba), omuyigiriza w’amawanga olw’okukkiriza n’amazima.
8Kyenva njagala abasajja basabenga mu buli kifo, nga bayimusa emikono emitukuvu, awatali busungu na mpaka. 92:9 1 Peet 3:3-5Bwe batyo n’abakazi beeyonjenga mu byambalo ebisaana, n’okukwatibwa ensonyi n’okwegendereza; si mu kulanganga enviiri, ne zaabu oba luulu oba engoye ez’omuwendo omungi; 102:10 1 Tim 5:10naye (nga bwe kisaanira abakazi abeeyita abatya Katonda) n’ebikolwa ebirungi. 112:11 Bef 5:22Omukazi ayigenga mu bukkakkamu mu kugonda kwonna. 122:12 1 Kol 14:34, Lub 3:16Naye omukazi mmugaanyi okuyigirizanga, newakubadde okufuganga omusajja, naye okubeeranga mu bukkakkamu. 132:13 Lub 1:27; 2:7,22, 1 Kol 11:8,9Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, oluvannyuma Kaawa; 142:14 Lub 3:6, 2 Kol 11:3era Adamu si ye yalimbibwa, naye omukazi oli ye yalimbibwa n’aba mu kwonoona: 15naye anaalokokanga mu kuzaala, bwe banaanyiikiriranga mu kukkiriza n’okwagala n’obutukuvu awamu n’okwegendereza.