Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

1
11:1 Bak 1:27Pawulo, omutume wa Kristo Yesu ng’okulagira kwa Katonda Omulokozi waffe bwe kuli n’okwa Kristo Yesu essuubi lyaffe; 21:2 Tit 1:4eri Timoseewo omwana wange ddala olw’okukkiriza: ekisa, okusaasira, emirembe bibenga gy’oli ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe.
31:3 Bik 20:1Nga bwe nnakubuulirira okubeera mu Efeso, bwe nnali nga ŋŋenda e Makedoni, olagirenga abamu obutayigirizanga bulala, 41:4 1 Tim 4:7newakubadde okulowoozanga enfumo n’ebigambo by’obuzaale ebitakoma, ebireeta empaka okusinga obuwanika bwa Katonda obuli mu kukkiriza; bwe nkola bwe ntyo ne kaakano: 51:5 Bar 13:10, Bag 5:6Naye enkomerero y’ekiragiro kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu n’omwoyo omulungi n’okukkiriza okutalina bukuusa: 61:6 1 Tim 6:4,20ebyo abamu babiwunjukamu ne bakyamira mu bigambo ebitaliimu; 7nga baagala okuba ng’abayigiriza b’amateeka, nga tebategeera bye boogera newakubadde bye bakakasa. 81:8 Bar 7:12Naye tumanyi ng’amateeka malungi, omuntu bw’agasoma ng’amateeka bwe gali, 9ng’amanyi ekyo nti amateeka tegateekerwawo muntu mutuukirivu, wabula abatali batuukirivu n’abajeemu, abatatya Katonda n’abalina ebibi, abatali batukuvu n’abavvoola Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, abassi b’abantu, 101:10 1 Tim 6:3abenzi, abalya ebisiyaga, abanyazi b’abantu, abalimba, abalayirira obwereere, n’ebirala byonna ebiwakana n’okuyigiriza okw’obulamu; 111:11 1 Tim 6:15ng’enjiri bw’eri ey’ekitiibwa kya Katonda eyeebazibwa gye nnateresebwa nze.
121:12 Bik 9:15, 1 Kol 15:9,10, Bag 1:13-16Mmwebaza oyo eyampa amaanyi, ye Kristo Yesu Mukama waffe, kubanga yandowooza nga ndi mwesigwa, bwe yanteeka mu buweereza, 13olubereberye bwe nnali omuvumi era omuyigganya era ow’ekyejo: naye nnasaasirwa kubanga nnakolanga nga ssimanyi mu butakkiriza; 14ekisa kya Mukama waffe ne kyeyongera nnyo wamu n’okukkiriza n’okwagala okuli mu Kristo Yesu. 151:15 Luk 15:2; 19:10Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okukkirizibwa kwonna nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w’olubereberye; 16naye kyennava nsaasirwa Yesu Kristo alyoke alabisize mu nze ow’olubereberye okugumiikiriza kwe kwonna, okubeeranga ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiriza olw’obulamu obutaggwaawo. 171:17 Bar 16:27Era Kabaka ow’emirembe n’emirembe, ataggwaawo, atalabika, Katonda omu, aweebwenga ettendo n’ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
181:18 1 Tim 6:12, Balam 1:3Ekiragiro kino nkuteresa, mwana wange Timoseewo, ng’ebigambo bya bannabbi bwe byali bye baakwogerako edda, olyoke olwanirenga mu byo olutalo olulungi, 191:19 1 Tim 3:9; 6:10ng’onyweza okukkiriza n’omwoyo omulungi, abalala gwe basindika eri ne bamenyekerwa okukkiriza kwabwe: 201:20 2 Tim 2:17, 1 Kol 5:5mu abo ye Kumenayo ne Alegezanda: be nnawa eri Setaani, balyoke bayigirizibwe obutavumanga.