Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

5
15:1 Mat 24:36Naye eby’entuuko n’ebiro, ab’oluganda, temwetaaga kubiwandiikirwa. 25:2 Mat 24:42-44, 2 Peet 3:10, Kub 3:3; 16:15Kubanga mwekka mumanyidde ddala ng’olunaku lwa Mukama waffe lujja ng’omubbi ekiro, bwe lutyo. 35:3 Yer 6:14, Yok 16:21,22, Mat 24:39, Luk 21:34,35Bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi, okuzikiriza okw’amangu ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n’akatono. 4Naye mmwe, ab’oluganda, temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng’omubbi: 55:5 Bar 13:12, Bef 5:9kubanga mmwe mwenna muli baana ba kutangaala, era muli baana ba musana: tetuli ba kiro newakubadde ab’ekizikiza; 6kale nno tulemenga okwebaka ng’abalala, naye tutunulenga tulemenga okutamiira. 7Kubanga abeebaka beebaka kiro; n’abatamiira batamiira kiro. 85:8 Bef 6:14-17, Is 59:17Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira, nga twambadde eky’omu kifuba eky’okukkiriza n’okwagala, n’enkuufiira, essuubi ly’obulokozi. 95:9 1 Bas 1:10, 2 Bas 2:14Kubanga ffe Katonda teyatuteekerawo busungu, wabula okuweebwa obulokozi ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, 105:10 1 Bas 4:14, Bar 14:8,9eyatufiirira ffe, bwe tutunula oba bwe twebaka tulyoke tubeere abalamu wamu naye. 115:11 Yud 20Kale musanyusaganenga, era muzimbaganenga buli muntu munne, era nga bwe mukola.
125:12 1 Kol 16:18, 1 Tim 5:17Naye tubeegayirira, ab’oluganda, okumanyanga abafuba okukola emirimu mu mmwe, ababafuga mu Mukama waffe, abababuulirira; 13n’okubassangamu ekitiibwa ennyo nnyini mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubeerenga n’emirembe mu mmwe. 145:14 2 Bas 3:6,11,14,15Era tubabuulirira, ab’oluganda, munenyenga abatatambula bulungi, mugumyenga abalina omwoyo omunafu, muyambenga abatalina maanyi, mugumiikirizenga eri bonna. 155:15 Nge 20:22, Bar 12:17, 1 Peet 3:9Mulabe omuntu yenna alemenga okuwalana ekibi olw’ekibi; naye ennaku zonna mugobererenga ekirungi mwekka na mwekka n’eri bonna. 165:16 Baf 4:4Musanyukenga ennaku zonna; 175:17 Luk 18:1, Bar 12:12, Bak 4:2musabenga obutayosa; 185:18 Bef 5:20mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli. 195:19 1 Kol 14:1,29,30,39Temuzikizanga Mwoyo; 20temunyoomanga bunnabbi; 215:21 1 Yok 4:1mugezengako ku bigambo byonna; munywerezenga ddala ekirungi; 225:22 Yob 1:1,8; 2:3mwewalenga buli ngeri ya bubi.
235:23 2 Bas 3:16Era Katonda ow’emirembe yennyini abatukulize ddala; era omwoyo gwammwe n’obulamu n’omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 245:24 1 Kol 1:9, 2 Bas 3:3Abayita mwesigwa, n’okukola ye alikola.
255:25 2 Bas 3:1Ab’oluganda, mutusabirenga.
265:26 1 Kol 16:20Mulamuse ab’oluganda bonna n’okunywegera okutukuvu. 27Mbalayiza Mukama waffe okusomera ebbaluwa eno ab’oluganda bonna.
28Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu nammwe.