Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

1
11:1 Bik 15:40; 17:1, 2 Bas 1:1Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey’Abasessaloniika eri mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo: ekisa kibeerenga gye muli n’emirembe.
21:2 2 Bas 1:11Twebaza Katonda ku lwammwe mwenna ennaku zonna, nga tuboogerako mu kusaba kwaffe; 31:3 1 Kol 13:13, Bak 1:4,5nga tujjukira bulijjo omulimu gwammwe ogw’okukkiriza, n’okufuba okw’okwagala, n’okugumiikiriza okw’essuubi lya Mukama waffe yesu Kristo, mu maaso ga Katonda era Kitaffe; 4nga tumanyi, ab’oluganda abaagalwa Katonda, okulondebwa kwammwe, 51:5 1 Kol 2:5kubanga enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga bwe mumanyi bwe twali gye muli ku lwammwe. 61:6 1 Kol 4:16, Bik 13:52, 2 Bas 3:9Nammwe ne mutugoberera ffe ne Mukama waffe, bwe mwatoolera ekigambo mu kubonaabona okungi, n’essanyu ery’Omwoyo Omutukuvu; 71:7 1 Bas 4:10, Baf 3:7, 1 Peet 5:3mmwe n’okuba ne muba ekyokulabirako eri abakkiriza bonna mu Makedoni ne mu Akaya. 81:8 Bar 1:8Kubanga gye muli ye yava eddoboozi ly’ekigambo kya Mukama waffe, si mu Makedoni ne mu Akaya yokka, naye mu buli kifo okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna; bwe tutyo ne tutabaako kigambo kye twetaaga okwogera. 91:9 Bik 14:15, Yok 17:3, 1 Kol 12:2Kubanga bo bokka babuulira ebyaffe okuyingira kwaffe gye muli bwe kwali; era ne bwe mwakyukira Katonda okuleka ebifaananyi, okuweerezanga Katonda omulamu ow’amazima, 101:10 1 Bas 5:9, Tit 2:13, Bik 17:31n’okulindiriranga Omwana we okuva mu ggulu, gwe yazuukiza mu bafu, Yesu, atulokola mu busungu obugenda okujja.