Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

5
15:1 2 Yok 1, 3 Yok 1:1, Bar 8:17, Kub 1:9Kale mbuulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe era omutegeeza w’ebibonoobono bya Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulibwa: 25:2 Yok 10:12; 21:16, Fir 14, Tit 1:11, Bik 20:28, 1 Tim 3:2-7mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, nga mukirabirira si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw’ayagala; so si lwa kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo; 35:3 2 Kol 1:24, Tit 2:7, Baf 3:17, 1 Bas 2:7so si ng’abeefuula abaami b’ebyo bye mwateresebwa, naye nga mubeeranga byakulabirako eri ekisibo. 45:4 1 Peet 2:25, Beb 13:20, 1 Kol 9:25, 2 Tim 4:8Era Omusumba omukulu bw’alirabisibwa, muliweebwa engule ey’ekitiibwa etewotoka. 55:5 Bef 5:21, Mat 23:12, Yok 13:4,14, Yak 4:6Bwe mutyo, abavubuka, mugonderenga abakadde. Era mwenna mwesibenga obuwombeefu, okuweerezagananga mwekka na mwekka: kubanga Katonda aziyiza ab’amalala, naye abawombeefu abawa ekisa. 65:6 Yob 22:29, Yak 4:10Kale mwewombeekenga wansi w’omukono ogw’amaanyi ogwa Katonda, alyoke abagulumize ng’obudde butuuse; 75:7 Zab 55:22, Mat 6:25, Baf 4:6nga mumusindiikiririzanga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga ye ateeka ku mwoyo ebigambo byammwe. 85:8 1 Bas 5:6, Luk 18:3, Yak 4:7Mutamiirukukenga, mutunulenga; omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya: 95:9 Bef 6:11-13oyo mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi ng’ebibonoobono ebyo bituukirira eri baganda bammwe abali mu nsi. 105:10 1 Peet 1:6, 1 Bas 2:12Era Katonda ow’ekisa kyonna, eyabayitira ekitiibwa kye ekitaggwaawo mu Kristo, bwe mulimala okubonyaabonyezebwako akaseera akatono, ye yennyini alibatuukiriza, alibanyweza, alibawa amaanyi. 11Oyo aweebwenga obuyinza emirembe n’emirembe. Amiina.
125:12 Beb 13:22Mbaweerezza ebbaluwa mu mikono gya Sirwano ow’oluganda omwesigwa, nga bwe ndowooza, ey’ebigambo ebitono, nga mbabuulirira, ne mbategeeza ng’ekyo kye kisa eky’amazima ekya Katonda; mukinywererengamu. 135:13 Bik 12:12,25, 2 Tim 4:11Omukyala ali mu Babbulooni mulonde munnammwe abalamusizza; ne Makko omwana wange. 145:14 1 Kol 16:20Mulamusagane n’okunywegera okw’okwagala.
Emirembe gibeerenga nammwe mwenna abali mu Kristo.