Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

4
14:1 Bar 6:2,7Kale kubanga Kristo yabonyaabonyezebwa mubiri, nammwe mwambalenga ebyokulwanyisa gwe mwoyo ogwo; kubanga abonyaabonyezebwa omubiri ng’amaze okuleka ebibi; 24:2 1 Yok 2:16,17mulyoke mumale ebiro byammwe ebisigaddeyo nga mukyali mu mubiri, si lwa kwegomba kwa bantu, naye olw’ebyo Katonda by’ayagala. 34:3 Bef 2:2,3, Tit 3:3Kubanga ebiro ebyayita byayinza okutumala okukolanga ab’amawanga bye baagala, n’okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamirira omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n’okusinza ebifaananyi okw’omuzizo: 4ebyo bye bibeewuunyisa kubanga temuddukira wamu nabo mu bukaba obutalabwanga bwe butyo, nga babavuma: 54:5 Bik 10:42, 2 Tim 4:1, Bar 14:9,10abaliwoza ensonga eri oyo eyeeteeseteese okusala omusango gw’abalamu n’abafu. 64:6 1 Peet 3:19, Bar 8:10, 1 Kol 5:5Kubanga enjiri kyeyava ebuulirwa era n’abafu, balyoke basalirwe omusango ng’abantu bwe bali mu mubiri, naye babeere abalamu nga Katonda bw’ali mu mwoyo.
74:7 1 Kol 10:11, 1 Yok 2:18Naye enkomerero ya byonna eri kumpi: kale mwegenderezenga mutamiirukukenga olw’okusaba: 84:8 Nge 10:12, 1 Peet 1:22, Yak 5:20, 1 Kol 13:7okusinga byonna nga mulina okwagalananga okungi ennyo mwekka na mwekka: kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi: 94:9 Beb 13:2nga musembezaganyanga awatali kwemulugunya: 104:10 Luk 12:42nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, nga mukiweereza mwekka na mwekka bwe mutyo, ng’abawanika abalungi ab’ekisa kya Katonda ekitali kimu; 114:11 Bar 3:2; 12:7, 1 Kol 10:31omuntu yenna bw’ayogeranga, ayogerenga ng’ebiragiro bya Katonda bwe biri; omuntu yenna bw’aweerezanga, aweerezenga ng’amaanyi Katonda g’amuwa bwe gali: mu byonna Katonda agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, alina ekitiibwa n’obuyinza emirembe n’emirembe. Amiina.
124:12 1 Peet 1:6,7Abaagalwa, temwewuunyanga olw’okwokebwa okuli mu mmwe, okujja gye muli olw’okubakema, ng’abalabye eky’ekitalo: 134:13 Bik 5:41, Yak 1:2, Bar 8:17, 2 Tim 2:12naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw’ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n’okujaguza. 144:14 1 Peet 2:20, Is 11:2, Zab 89:50,51Bwe muvumibwanga olw’erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw’ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe. 15Kubanga omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne: 164:16 Bik 11:26, Baf 1:20naye omuntu yenna bw’abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo. 174:17 Ez 9:6, Yer 25:29, 2 Bas 1:8Kubanga obudde butuuse omusango gutandikirwe mu nnyumba ya Katonda: kale, oba nga gusoose gye tuli, enkomerero guliba gutya eri abo abatagondera njiri ya Katonda? 184:18 Nge 11:31, Luk 23:31Era oba nga kizibu omutuukirivu okulokoka, atatya Katonda omwonoonyi alirabika wa? 194:19 Zab 31:5Kale n’abo ababonyaabonyezebwa nga Katonda bw’ayagala bamuteresenga Omutonzi omwesigwa, obulamu bwabwe olw’okukola obulungi.