Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

2
12:1 Bef 4:22, Yak 1:21Kale muteekenga wala obubi bwonna n’obukuusa bwonna n’obunnanfuusi n’obuggya n’okwogera obubi kwonna, 22:2 1 Kol 3:2, Beb 5:12,13, Mat 18:3ng’abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag’omwoyo agataliimu bulimba, galyoke gabakuze okutuuka ku bulokovu; 32:3 Zab 34:8oba nga mwalega ku Mukama waffe bw’ali omulungi: 42:4 Zab 118:22, Is 28:16, Mat 21:42, Bik 4:11nga mujja eri oyo, ejjinja eddamu, eryagaanibwa abantu, naye eri Katonda ddonde, lya muwendo mungi, 52:5 Bef 2:21,22, Bar 12:1era nammwe ng’amayinja amalamu muzimbibwa ennyumba ey’omwoyo okubeeranga bakabona abatukuvu, okuwangayo ssaddaaka ez’omwoyo, ezisiimibwa Katonda ku bwa Yesu Kristo. 62:6 Is 28:16, Bar 9:33Kubanga waliwo mu kyawandiikibwa nti
Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja ekkulu ery’oku nsonda, eddonde, ery’omuwendo omungi:
Era amukkiriza talikwasibwa nsonyi.
72:7 Zab 118:22, Mat 21:42Kale eri mmwe abakkiriza omuwendo mungi: naye eri abatakkiriza,
Ejjinja abazimbi lye baagaana, eryo lye lyafuuka omutwe ogw’oku nsonda;
82:8 Is 8:14, Bar 9:33era
Ejjinja eryesittalwako, era olwazi olusuula;
kubanga beesittala ku kigambo nga tebagonda; era kwe baateekerwawo. 92:9 Is 43:20, Kuv 19:6, Bik 26:18, 2 Kol 4:6, Bef 5:8, Baf 2:15, Kub 1:6Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by’oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw’ekitalo: 102:10 Kos 1:6,9; 2:1,23, Bar 9:25edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda: abaali batasaasirwa, naye kaakano musaasiddwa.
112:11 Zab 39:12, Bag 5:17,24, Bef 2:19, Yak 4:1Abaagalwa, mbeegayirira ng’abayise n’abatambuze, okwewalanga okwegomba kw’omubiri okulwana n’obulamu; 122:12 Is 10:3, Mat 5:16, Yak 3:13nga mulina empisa zammwe mu b’amawanga ennungi, nga bwe baboogerako ng’abakola obubi, olw’ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw’okulabirwamu.
132:13 Bar 13:1-7, Tit 3:1Mugonderenga buli kiragiro ky’abantu ku bwa Mukama waffe: oba kabaka nga ye asinga bonna; 14oba abaamasaza, nga ye b’atuma olw’okukangavvulanga abakola obubi, n’olw’okusiimanga abakola obulungi. 152:15 1 Peet 3:16Kubanga Katonda bw’ayagala bw’atyo, mmwe okusirisanga obutamanya bw’abantu abasirusiru nga mukola obulungi: 162:16 Bag 5:13ng’ab’eddembe, so si ng’abalina eddembe lyammwe olw’okukisa obubi, naye ng’abaddu ba Katonda. 172:17 Bar 12:10, Nge 24:21, Mat 22:21Mussengamu ekitiibwa abantu bonna. Mwagalenga ab’oluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa kabaka.
182:18 Bef 6:5, Tit 2:9Abaweereza, mugonderenga bakama bammwe mu kutya kwonna, si balungi bokka n’abawombeefu, naye era n’abakambwe. 19Kubanga kino kye kisiimibwa, omuntu bw’agumiikiriza okulumwa olw’okujjukira Katonda, ng’abonyaabonyezebwa awatali nsonga. 202:20 1 Peet 3:14,17; 4:13,14, Mat 5:10Kubanga bwe mukola obubi ne mukubibwa empi, bwe muligumiikiriza, ttendo ki? naye bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda. 212:21 Mat 16:24, Yok 13:15Kubanga ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng’abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye: 222:22 Is 53:9, Yok 8:46, 2 Kol 5:21ataakola kibi, newakubadde obukuusa tebwalabika mu kamwa ke: 23bwe yavumibwa, ataavuma nate; bwe yabonyaabonyezebwa, ataakanga; naye yeewaayo eri oyo asala omusango ogw’ensonga: 242:24 1 Yok 3:5, Bar 6:11, Beb 9:28eyeetikka ye yennyini ebibi byaffe mu mubiri gwe ku muti, ffe nga tumaze okufa ku bibi, tulyoke tubeerenga abalamu eri obutuukirivu; okukubibwa kw’oyo kwe kwabawonya. 252:25 Is 53:5, Ez 34:5, Yok 10:11Kubanga mwali mukyama ng’endiga; naye kaakano mukomyewo eri Omusumba era omulabirizi w’obulamu bwammwe.