Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

5
15:1 1 Yok 4:15,16, 1 Peet 1:22,23Buli muntu yenna akkiriza nga Yesu ye Kristo, ng’azaaliddwa Katonda: na buli ayagala eyazaala ayagala n’oyo gwe yazaala. 2Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola ebiragiro bye. 35:3 Yok 14:15,23,24, Mat 11:30Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa. 45:4 Yok 16:33Kubanga buli ekyazaalibwa katonda kiwangula ensi; era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, okukkiriza kwaffe. 55:5 1 Yok 4:4Era awangula ensi ye ani, wabula akkiriza nga Yesu ye Mwana wa Katonda? 65:6 Yok 19:34,35Oyo ye yajja n’amazzi n’omusaayi, Yesu Kristo; si na mazzi gali gokka, naye n’amazzi gali n’omusaayi guli. 7Era Omwoyo yategeeza, kubanga Omwoyo ge mazima. 8Kubanga abategeeza basatu, Omwoyo n’amazzi n’omusaayi; era abasatu abo bagendera wamu. 95:9 Yok 5:32,36; 8:18Bwe tukkiriza okutegeeza kw’abantu, okutegeeza kwa Katonda kwe kusinga obukulu: kubanga okutegeeza kwa Katonda kwe kuno nti ategeezezza eby’Omwana we. 105:10 Bar 8:16, 1 Kol 15:15Akkiriza Omwana wa Katonda alina okutegeeza mu ye; atakkiriza katonda ng’amufudde mulimba; kubanga takkiriza kutegeeza Katonda kw’ategeezezza eby’Omwana we. 11Era okutegeeza kwe kuno nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we. 125:12 Yok 3:36Alina Omwana alina obulamu; atalina Mwana wa katonda talina bulamu.
135:13 Yok 20:31Ebyo mbiwandiikidde mmwe, mumanye nga mulina obulamu obutaggwaawo, mmwe abakkiriza erinnya ly’Omwana wa katonda.
145:14 1 Yok 3:21,22, Yok 14:13; 16:23Era buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw’ayagala, atuwulira: 15era bwe tumanya ng’atuwulira buli kye tusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye. 165:16 Mat 12:31, Beb 6:4-6Omuntu yenna bw’alabanga muganda we ng’akola ekibi ekitali kya kufa, anaasabanga, ne Katonda anaamuweeranga obulamu abo abakola ekibi ekitali kya kufa. Waliwo ekibi eky’okufa: ekyo si kye njogerako okukyegayiririranga. 17Buli ekitali kya butuukirivu kibi: era waliwo ekibi ekitali kya kufa.
185:18 1 Yok 3:9, Yok 17:15Tumanyi nga buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi; naye eyazaalibwa Katonda amukuuma, omubi n’atamukomako. 195:19 Bag 1:4, Yok 8:47Tumanyi nga tuli ba Katonda, n’ensi yonna eri mu mubi. 205:20 Yok 17:3, Bar 9:5Era tumanyi nga Omwana wa Katonda yajja n’atuwa amagezi n’okutegeera tutegeera ow’amazima, era tuli mu oyo ow’amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow’amazima, n’obulamu obutaggwaawo. 215:21 1 Kol 10:14Abaana abato, mwekuumenga ebifaananyi.