Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

4
14:1 1 Bas 5:21, Mat 7:15Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyava eri Katonda: kubanga bannabbi ab’obulimba bangi abafuluma mu nsi. 24:2 1 Kol 12:3Mutegeererenga ku kino Omwoyo gwa Katonda: buli mwoyo ogwatula nga Yesu Kristo yajja mu mubiri nga guvudde eri Katonda: 34:3 1 Yok 2:18, Yok 8:17na buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda: era ogwo gwe mwoyo gw’omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nga gujja, era kaakano gumaze okuba mu nsi. 4Mmwe muli ba Katonda, abaana abato, era mwabawangula: kubanga ali mu mmwe asinga obukulu ali mu nsi. 54:5 Yok 15:19Abo ba nsi: kyebava boogera eby’ensi, n’ensi n’ebawulira. 64:6 Yok 8:47Ffe tuli ba Katonda: ategeera Katonda atuwulira ffe; atali wa Katonda tatuwulira. Ku ekyo kwe tutegeerera omwoyo ogw’amazima n’omwoyo ogw’obukyamu.
74:7 1 Yok 2:29Abaagalwa, twagalanenga: kubanga okwagala kuva eri Katonda; na buli muntu yenna ayagala yazaalibwa Katonda era ategeera Katonda. 8Atayagala tategeera Katonda; kubanga Katonda kwagala. 94:9 Yok 3:16, Yok 14:15,23,24, Mat 11:30Ku kino okwagala kwa Katonda kwe kwalabisibwa gye tuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu tulyoke tube abalamu ku bw’oyo. 104:10 1 Yok 2:2Mu kino mwe muli okwagala, so si nga ffe twayagala Katonda, naye nga ye yatwagala ffe, n’atuma Omwana we okuba omutango olw’ebibi byaffe. 114:11 Mat 18:33Abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo, naffe kitugwanira okwagalananga. 124:12 Yok 1:18Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna: bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n’okwagala kwe nga kutuukiridde mu ffe: 134:13 1 Yok 3:24, Bar 5:5ku kino kwe tutegeerera nga tubeera mu ye, naye mu ffe, kubanga yatuwa ku Mwoyo gwe. 144:14 Yok 3:17Naffe twalaba era tutegeeza nga Kitaffe yatuma Omwana we okuba Omulokozi w’ensi. 154:15 1 Yok 5:5Buli ayatula nga Yesu ye Mwana wa Katonda, Katonda abeera mu ye, naye mu Katonda. 16Nate twategeera era twakkiriza okwagala Katonda kw’alina gye tuli. Katonda kwagala; n’oyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. 174:17 1 Yok 2:28Mu ekyo okwagala mwe kutuukirizibwa gye tuli, tubeere n’obugumu ku lunaku olw’omusango; kuba ye nga bw’ali, naffe bwe tuli mu nsi muno. 18Temuli kutya mu kwagala, naye okwagala okutuukirivu kugobera ebweru okutya, kubanga okutya kulimu okubonerezebwa; n’oyo atya tannatuukirizibwa mu kwagala. 19Ffe twagala, kubanga ye yasooka okutwagala ffe. 20Omuntu bw’ayogera nti Njagala Katonda, n’akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw’atalabangako tayinza kumwagala. 214:21 Mak 12:29-31Era tulina ekiragiro kino ekyava gy’ali, ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.