Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

1
11:1 Yok 1:1,14Ekyabaawo okuva ku lubereberye, kye twawulira, kye twalaba n’amaaso gaffe, kye twatunuulira, era engalo zaffe kye zaakwatako, ebya Kigambo eky’obulamu 21:2 Yok 1:4(n’obulamu bwalabisibwa, ne tulaba, era tutegeeza, era tububuulira mmwe obulamu obwo obutaggwaawo, obwabaawo awali Kitaffe ne bulabisibwa gye tuli); 3kye twalaba ne tuwulira, kye tubabuulira nammwe, nammwe mulyoke musse ekimu naffe; era naye okussa ekimu kwaffe kuli ne Kitaffe era n’Omwana we Yesu Kristo; 41:4 Yok 15:11; 16:24n’ebyo tubiwandiika ffe, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
51:5 Yak 1:17Ne kino kye kigambo kye twawulira ekyava mu ye era kye tubuulira mmwe, nga Katonda gwe musana, so mu ye ekizikiza temuli n’akatono. 61:6 1 Yok 2:4, Yok 3:21Bwe twogera nga tussa kimu naye ne tutambuliranga mu kizikiza, tulimba ne tutakola mazima; 71:7 Beb 9:14, Kub 1:5; 7:14naye bwe tutambulira mu musana, nga ye bw’ali mu musana, tussa kimu fekka na fekka, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi kyonna. 8Bwe twogera nga tetulina kibi, twekyamya fekka so nga n’amazima tegali mu ffe. 91:9 Nge 28:13Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n’okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu. 10Bwe twogera nga tetwonoonanga, tumufuula mulimba, so nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.