Swahili.Bible
Bible Society of Kenya
Bible Society of Kenya
Madaraka, Nairobi
PO Box 72983
Tel: 254 20602807
E-mail: info@biblesociety-kenya.org

13
1Bwe njogera n’ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye ne ssiba na kwagala, nga nfuuse ekikomo ekivuga n’ebitaasa ebisaala. 213:2 Mat 7:22; 17:20Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n’okutegeera kwonna; era bwe mba n’okukkiriza kwonna, n’okuggyawo ne nziyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu. 313:3 Mat 6:2Era bwe ngabira abaavu bye nnina byonna okubaliisanga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye ne ssiba na kwagala, nga ssiriiko kye ngasizza. 4Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza, 513:5 Zek 8:17, Baf 2:4tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo; 613:6 Bar 13:9tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n’amazima; 713:7 Nge 10:12, 1 Kol 9:12, Bar 15:1kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriziza byonna. 813:8 1 Peet 4:8Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo. 9Kubanga tutegeerako kitundu, era tulagulako kitundu: 10naye ebituukirivu bwe birijja, eby’ekitundu birivaawo. 11Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng’omuto, nnategeeranga ng’omuto, nnalowoozanga ng’omuto: bwe nnakula, ne ndeka eby’obuto. 1213:12 2 Kol 5:7, Yak 1:23Kubanga kaakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulitunulagana n’amaaso: kaakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala era nga bwe nnategeererwa ddala. 1313:13 1 Bas 1:3, 1 Yok 4:16Naye kaakano waliwo okukkiriza, okusuubira, okwagala, ebyo byonsatule; naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala.